TOP

Yaaya awadde abaana ba mukama we obutwa

Added 25th January 2010

Omukozi Sarah Kushemereirwe yasekudde  amanda ga leediyo n’agatabula mu buugi obwabaddemu amata  n’agawa abaana ba Sarah Muyanja omusawo w’e Mulago nga mutuuze w’e Kawempe - Ttula ng’ayagala okubatta ku Lwomukaaga akawungeezi  era obutwa buno bwatwaliddwa ku poliisi ye Kawempe ng’e

Omukozi Sarah Kushemereirwe yasekudde  amanda ga leediyo n’agatabula mu buugi obwabaddemu amata  n’agawa abaana ba Sarah Muyanja omusawo w’e Mulago nga mutuuze w’e Kawempe - Ttula ng’ayagala okubatta ku Lwomukaaga akawungeezi  era obutwa buno bwatwaliddwa ku poliisi ye Kawempe ng’ekizibiti.

Abaana abaanywedde obuugi  kuliko Junior Ojwang (2), n'abaana babaganda ba Muyanja okuli  Ray Nakku (9) ne  Nuha Nasuuna muwala  wa Kansala Rehema Ssemanda.

Muyanja yakomyewo awaka  ekiro ng’ava ku mulimu e Mulago yasanze abaana bawotookeredde. Nassuuna yagambye nnyina nti yalabye Kushemereirwe alina ebintu ebiddugavu by'atabula mu buugi bwe yabawadde. 

Yakebedde ebikopo ne ssepiki nga mulimu amanda kwe kukubira Ssemanda essimu eyazze mu bwangu ne batwala  abaana mu  mu ddwaaliro e Mulago  ne bajjanjabwa.

Omukozi bamututte ku poliisi e Mulago  n’aggulwako omusango gwa kugezaako kutta bantu ku fayiro 03/24/01/2010.
  

Yaaya awadde abaana ba mukama we obutwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...