TOP

Omwana afudde bamusabira

Added 18th January 2010

 Omusumba   Joseph Ssennyonjo yagolodde emikono n’agissa ku mwana n’asaba: mu linnya lya Yesu ndagira… yeeyongedde okusaba n’ayogera n’ennimi: Ssi nda bakuluba… in the name of Jesus”. We yamaliddeyo essaala ng’omwana mufu.

  Bw’atyo nnyina w’omwa-na Jimmy Kiganda 3,

 Omusumba   Joseph Ssennyonjo yagolodde emikono n’agissa ku mwana n’asaba: mu linnya lya Yesu ndagira… yeeyongedde okusaba n’ayogera n’ennimi: Ssi nda bakuluba… in the name of Jesus”. We yamaliddeyo essaala ng’omwana mufu.

  Bw’atyo nnyina w’omwa-na Jimmy Kiganda 3, Oliver Namaganda  ne bba Ssaalongo Samson Musisi ab’e Nansana ku Yesu Amala ne bafiirwa mutabani waabwe mu ngeri y’olusaago.

 Ku     Lwomukaaga, Ssaalongo yabadde tali waka, omwana n’alumbibwa yaabwe (omusujja gw’okwesika). Ssenga w’omwana Olive Nakiwala, yawadde mulamu we amagezi (maama w’omwa-na) aleme kutya kuba   Omusumba Ssennyonjo ow’ekkanisa ya Restoration Power Church e Nansana  obwo obulwadde ajja kubusabira bugende.

 Nakiwala   yakubidde omusumba essimu, n’abakkiriza (omusumba) bamutwalire mangu omwana. Bwe baatuuse mu kkanisa n’abasalira 20,000/-. Olwazi-muwadde n’atandika okusaba kyokka omwana n’afa.

 Omusumba bwe yategedde ng’omwana afudde yayise mmanju n’adduka n’okutuusa kati poliisi emunoonya.

   Ono muntu waakubiri okufiira mu ngalo za Ssennyonjo mu bbanga lya myezi esatu gyokka. Eyasooka ye Joel Enzema ow’e Gganda mu Wakiso eyafa nga bamusabira nga October 4, 2009.

 Nnyina  w’omwana   bwe yategedde nga mutabani we afudde n’atema emiranga, abantu ne bakung’aana. Poliisi yayitiddwa n’ezingako ekkanisa n’ekwata abayambi b’omusumba babiri ne batwalibwa mu kaduukulu e Nansana. Omulambo baagututte e Mulago gye gwaggyiddwa ne guziikibwa e Wamala okumpi n’e Nansana ku Ssande.

   Maama   w’omwana  yagambye nti bwe baatuuse ew’omusumba yamutegeezezza nti naye yennyini (maama w’omwana alina dayimooni) ng’okumujjanjaba n’omwana we kyetaagisa 50,000/-.

 “Omusumba bwe yalabye omwana atandise okukanuka n’antegeeza nti bamalayika baabadde batandise okukola. Nnatandise okutya nga ndaba omwana wange afa kyokka ye n’angumya nti Bamalayika bwe batyo bwe bakola omulimu gwa Mukama era n’andagira mutwale mubikkire wansi ku kiwempe bamalayika bamuyitemu era we yamumpeeredde nsuubira yabadde amaze okufa”.

  Agamba nti olwamuta-dde ku kiwempe we yategeeredde nti omwana afudde. Yabadde akya-mwetegereza omusumba n’abulawo.

 Omusumba    Joseph Sserwadda ow’amakanisa ga Victory yeeyaanyi Ssennyonjo gwe yagambye nti be bamu ku basumba abafere abaliwo okubba obubbi abantu mu Kampala.

  “Mu biwandiiko byaffe tetumulinaamu, tewali musumba awonya musujja guluma muntu era abantu ab’engeri eno abavumaganyisa abalo-kole poliisi esaana eveeyo ebakwate,” Sserwadda bwe yategeezezza.

 Ye omusumba Irene Manjeeri yagambye nti wadde abalokole bakola eby’amagero, omusumba tasaanidde kwefuula musawo n’asaba ne ssente okuwonya omuntu.

  Yagambye nti mu mbeera eno, omusumba Ssennyonjo asaana kukwatibwa bamugguleko emisango.

Omwana afudde bamusabira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...