Prossie e Kyaliwajjala.
oba omusajja akugambye nti takyayagala kuzaala, nze ndowooza kyesonyiwe. newankubadde osobola okulabirira omwana ono naye munno bw’aba agaanyi towaliriza. Ogambye omwana omukulu si ggwe omuzaala naye jjukira nti omwami wo amulinako obuvunaanyizibwa ng’alaba omugugu tajja kugusobola. Ku myaka gy’oliko nze ndaba ng’ebyokuzaala wandibyesonyiye.
Njagala kufuna mulala
Ssenga nnina obuzibu. njagala okufuna mukyala mulala kuba mukyala wange yafuna akabenje n’ayisibwa bubi era kati twakamala emyaka etaano nga tetwegatta. Abasawo bang’amba nga yaakafuna obuzibu buno nti tagenda kuddamu kwegatta naye n’ang’amba nti nsobola okufuna omukyala omulala naye eby’abakyala obimanyi nga kiyinza okumuyisa obubi. Wano we mbuuliza nti omukyala mmubuulire kye ngenda okukola oba nfune omukyala nga tamanyi asigale nga wakyama?
Bosco -Kitintale
Okusokeera ddala nkwebaza olw’obugumiikiriza bw’olaze ku nsonga eno kuba abantu abamu tebasobola kutuusa myaka egyo nga tebeegaase. Eky’okufuna omukyala omulala nze ndaba nga kyamagezi kuba ekizibu si kyakuvaawo kati. Ku kya mukyalawo olina okusooka okufuna endowooza ye ng’oyita mu mukwano gye oba mu bakulu
b’eddiini kuba nabo ekizibu bakiraba.
Obusajja tebwegolola
Ssenga obusajja bwange bwe bufuna amaanyi tebwegolola bulungi. Ntya nti nnyinza obutazaala. Emirundi egimu mbulaba nga bwegolodde bulungi naye simanyi kyantuukako. Nnyamba ku nsonga eno.
Masembe kyampisi.
newankubadde ng’abantu abasinga balowooza nti omusajja bw’afuna amaanyi obusajja bwe buba bulina okwegolola obutereevu si, kituufu kuba oluusi bwegolola bulungi ate olumu tebwegolola. Kale kino tekyandikweraliikirizza na kukumalako nnyo mirembe kuba kituuka ku bangi. Ate bw’ogenda okula n’amaanyi gaba gakendeera nga teweegerageranya na muvubuka. Ekirala embeera gy’obeeramu mu kiseera ekyokwegatta nayo eyinza okuleetawo obusajja obuteegolola bulungi. Ate embeera gy’obeeramu nga weetegereza oba obusajja bwegolodde, omusaayi ogwandigenze mu busajja okufuna amaanyi gusigala mu bwongo n’osigala nga togafunye. Olina okusigala ng’olowooza kyogendako okusinga okweraliikirira obusajja kye buliko.
Ono yakula atya?
mukyala wange teyakula nga bakyala balala. Alina ebintu ebyakula mu bukyala era ng’ebimu biri ku ngulu. Mmaze naye emyaka kati ebiri era nga yabirina nga naakamwagala naye nga bitono naye kati bikuze. Ye ang’amba nti bwe yakula era wano we mbuuliza oba nga kituufu kuba nze sikirabangako.
Isma- Kansanga
Nedda mwana wange obukyala tebubeera butyo. Ebintu bwe biba byeyongera kukula obwo bulwadde bwa binanaansi. Abakyala n’abasajja bangi bafuna obulwadde buno naye abamu balowooza nti babaloga mu kifo ky’okugenda okwejjanjabisa. Obulwadde buno bwakikaba nga buyita mu kwegatta. Bwe biba bikuze nnyo mugambe agende mu ddwaaliro eddene kuba be basobola okujjanjaba endwadde ez’amaanyi ate tagenda mu basawo bakinnansi kuba tebajja kumuyamba. Obulwadde buno bwetaaga musawo mukugu kuba bwalwawo biyinza okumuviirako ebizibu si nakindi okumwonoona munda n’atasobola kuzaala.
Omukyala akunama
Ssenga obuzibu bwe nnina buva ku ngeri mukyala wange gye yeeyisaamu. ayambala bubi nnyo ate bwe mmugambako ng’anyiiga era yang’amba nti ye by’ayagala. Bazadde bange tebakyajja wange nga bagamba omukazi abakunamira kyokka bwe mbimugamba talina kyannyega. Ekinnuma si bwe yali mu kusooka naye okuva lwe yabitandika yakyuka mu buli kimu. simanyi kyakumukolera kuba kimpitiriddeko. NnyambaÂ
Joshua- Makerere
MWANA wange ng’olabye n’ekizibu kino. Abasajja bangi ennaku zino beemulugunya nnyo ku bakyala okwambala obubi era nga bangi balina ekizibu kino mu maka gaabwe. Simanyi lwaki abakyala n’abawala bangi ennaku zino balowooza nti enkunamyo kwe kwambala okutuufu ne beerabira nti buli lw’olaga omubiri gwo kiba kikuweebuula. Omubiri gw’omukyala guba gulina kulabibwa bba yekka ate nga bali mu kisenge naye abennaku zino bansobedde busobezi. Buli lw’olaga omubiri gwo oba oweebuuka naye kino tebakitegeera.
Bazadde bo batuufu kuba tebasobola kujja wuwo nga mukamwana waabwe abakunamira bwatyo. Yogerako ne bazadde be olabe oba anaakyusa kuba ayinza okuba ng’alina gye yabikoppa ate ye nga takimanyi nti aba aswala. bw’atakyuse awo oba olina okutandika okwebuuza lwaki ennaku zino yeeyisa bwati ate nga si bwe yali kuba yandiba ng’alina ekigendererwa kye gwe kyotamanyi si kulwa ng’okuuma lubugo. Olw’obulungi bw’omukwano gwammwe mulage nti byakola tebikusanyusa era tobyagala ayinza okukyusaamu.
tayagala kuzaala