Abamu ku batuuze abababbidwa kuliko Festo Buwembo eyatemeddwa embale ku mutwe ne ku kibegabega, Muky. Tumuhimbise edduuka lye baaliwanguddemu eddirisa ssaako okubba ebintu bye, Alex Amanzi ow’edduuka baamunyazeeko obukadde 5 n’abalala.
Ababbi baabadde n’ennyondo, amajambiya magalo n’amacupa obwedda ge bakasukira abantu n’okuwangulamu amadirisa n’enzigi zabagaanyi okuggulawo.
RDC atwala ekitundu kino, Edward Ssekabanja yayise olukiiko lw’ebyokwerinda olw’amangu okulaba nga bongera amaanyi mu by’okerinda mu kitundu kino.
Abatuuze beekokkodde oluguudo lwa Northern-by pass nti lwe luvaako ababatigomya n’abavubuka abatalina mirimu abasiiba ku matatu okuzibya obudde.
Balumbye abatuuze b’e Kisaasi ne babanyaga