TOP

Abantu ba wansi bakyetaaga okuyambibwa

Added 21st December 2009


Yagambye nti mu 2009  Gavumenti elwanye olutalo lw’okugoba obwavu mu bantu ng’eyita mu kuyigiriza abantu batandike okukozesa tekinologiya owa waggulu mu kulima.

Uganda lye limu ku mawanga agayimiriddewo ku bulimi. Kituufu Gavumenti erina ky’ekoze okutumbula ebyobulimi ng’eyita


Yagambye nti mu 2009  Gavumenti elwanye olutalo lw’okugoba obwavu mu bantu ng’eyita mu kuyigiriza abantu batandike okukozesa tekinologiya owa waggulu mu kulima.

Uganda lye limu ku mawanga agayimiriddewo ku bulimi. Kituufu Gavumenti erina ky’ekoze okutumbula ebyobulimi ng’eyita mu bitongole nga NAADS okusomesa abantu ku nnima ey’omulembe n’okubawa ensigo ez’embala, wabula ettundutundu ddene erikyasigalidde mu bwavu. Kino kitegeeza nti kyetaagisa okwongera okulowooza ku ngeri endala abantu ze basobola okuyitamu okuva mu bwavu.

Okulimisa tekinologiya owa waggulu omuli okukozesa tulakita n’okulunda amagana biyambyeko abantu okwongeza ku nfuna yaabwe, wabula bino era bisobolwa abo abalinawo ku nsimbi. Kizibu omunaku nga n’ettaka alina ttono okusobola okukozesa tulakita okwekulaakulanya mu byobulimi.

Ekirala abalimi abasinga beesigama ku nkuba okukuza  bye baba balimye, n’olwekyo ssinga emala ebbanga nga tetonnye kitegeeza nti ne bye balimye tebijja kukula kubanga batono abasobola okufukirira.

N’olwekyo okusobola okukulaakulanya bannayuganda naddala abeesigamye ku byobulimi, wasaanye wassibwewo enkola eyamba bamufunampola okwongera ku nfuna yaabwe. Okugeza abantu ababeera mu byalo nga n’ettaka balina ttono bandibadde basomesebwa ku ngeri gye basobola okukozesaamu ettaka eryo nga balimirako ebintu bye basobola okutunda ne bafuna ku ssente. Kirungi basomesebwe n’emirimu emirala nga okulundira mu kifo ekifunda, n’okubayamba basobole okufuna akatale k’ebyo bye baba balunze n’okulima.

Abantu ba wansi bakyetaaga okuyambibwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga n'omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi.

Abaserikale musse ekitiibwa...

SSAABASUMBA w’Essaza Ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye abakuumaddembe okuyisa obulungi Bannayuganda...

Omusomesa ng'akebera omuyizi corona virus.

Minisitule y'ebyenjigiriza ...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ekoze enkyukakyuka mu birina okusomesebwa abayizi ba P7 abazzeeyo ku masomero n’ab’ebibiina...

Zzimula n'embuzi ze.

EMBUZI GYE BAMPA MU MUSOMO ...

ZZIMULA , mutuuze w’e Busega Kibumbiro zooni B mu munisipaali y'e Lubaga mu Kampala. Muluunzi wa mbuzi era yazizimbira...

Aikoru n'abaana baabadde atulugunya.

Abadde asuza abaana mu kaab...

OMUKAZI Juliet Aikoru ow’e Kazo Angola akwatiddwa ng’abadde amaze ebbanga ng’atulugunya abaana ba muggyawe be yalekera...