TOP

Nabukeera afunye tikiti z’ennyonyi

Added 14th December 2009

Nabukeera 17, agambibwa okwokebwa nnyina omuto e Masaka eyamulagira okwambala olugoye lwe yali ayiyeemu petulooli ate n’amugamba okukoleeza tadooba era olwagikoleeza n’olugoye ne lukwata omuliro n’aggya nga February 6, 2006.

 Ku Ssande akawungeezi, olukiiko olwatuuziddwa e Bbunga, a

Nabukeera 17, agambibwa okwokebwa nnyina omuto e Masaka eyamulagira okwambala olugoye lwe yali ayiyeemu petulooli ate n’amugamba okukoleeza tadooba era olwagikoleeza n’olugoye ne lukwata omuliro n’aggya nga February 6, 2006.

 Ku Ssande akawungeezi, olukiiko olwatuuziddwa e Bbunga, abamu ku baasonda ssente z’okujjanjaba Nabukeera ne lusalawo nti omwana ono alina okutwalibwa mu ddwaaliro lya Shriners Hospital for the Children e Galveston mu Amerika ku ntandikwa y’omwezi ogujja.

Olukiiko lwetabiddwaamu Frank Gashumba, Innocent Alisaba, Solomon Kajura, Emma Ssebuggwaawo, Godfrey Majwega, Haji Swaibu Nkonge, Godfrey Kalema n’abalala abaasazeewo bakozese obukadde 25 eziriwo okutwala Nabukeera mu ddwaaliro olwo basonde endala ng’omwana bw’ajjanjabwa.

Olukiiko lwategeezeddwa bwe waliwo omugagga ataayagadde  kwatuukirizibwa mannya eyawaddeyo tikiti z’ennyonyi ssatu okuli eya Nabukeera, eya nnyina Sophia Nakandi n’ey’omuntu omulala Gashumba gw’anaaba asiimye okubawerekera mu Amerika.

Omugagga ono y’omu ku baasooka okusondera Nabukeera ensimbi era ku mulundi ogwo yawaayo 500,000/- .

Kino kiddiridde obutakkaanya wakati wa Gashumba ne Nakandi nnyina wa Nabukeera.

Nakandi bwe yalabye ng’omwana tatwalibwa kwe kuwandiikira Gashumba ebbaluwa ng’amugamba basaze-emu eby’okumutwala okujjanjabwa, ssente ziweebwe Nakandi aguleko poloti azimbemu n’ennyumba mwe banaabeera n’omwana.

Gashumba abadde alabirira Nabukeera yasinzidde kw’ekyo n’agamba nti eby’okulabirira omwana abivuddemu era n’obu-kadde 25 ezaasigalawo kw’ezo obukadde 30 ezaasondebwa agenda kuziwa bakateyamba b’e Katalamwa n’abaana ba  Sanyu Babies Home mu kifo ky’okuziwa Nakandi.

Gashumba bwe yatuukiriddwa eggulo yagambye nti agenda kugondera ebyasaliddwaawo olukiiko olwatudde ku Ssande era n’alaga essanyu nti oluvannyuma lw’omugagga okubakakasa bw’agenda okubawa tikiti z’ennyonyi essatu, Nabukeera bagenda kumutwala alongoosebwe, ebibulako babisonde nga Nabukeera bw’ajjanjabwa. Enteekateeka z’okutwala Nabukeera n’abaagala okuwaayo obuyambi biri ku mukutu www.aishanabukeera.ug

Yagambye nti ekisigadde  kukola nteekateeka n’omusawo eyateekebwawo eddwaaliro okulongoosa Nabukeera abawe ennaku z’omwezi mw’anaatandikira okumujjanjaba, kw’ossa n’okutegeka w’anaasuula  n’ebyentambula z’ennyonyi mwe banaagendera.

Nabukeera afunye tikiti z’ennyonyi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...