TOP

Gashumba totuzannyirako tujja kukusiba - abantu

Added 13th December 2009

Bagambye nti tebawagira kuwa maama wa Nabukeera ssente zaasondebwa ate era tebawagira kuziwa baana bataliiko mwasirizi, Gashumba ateekwa okutwala Nabukeera mu Amerika bw’ataakikole y’ajja okuvunaanyizibwa ku byonna ebinaddirira.

Minisita wa Kabaka ow’ebyobulamu, Nelson Kawalya yagamby

Bagambye nti tebawagira kuwa maama wa Nabukeera ssente zaasondebwa ate era tebawagira kuziwa baana bataliiko mwasirizi, Gashumba ateekwa okutwala Nabukeera mu Amerika bw’ataakikole y’ajja okuvunaanyizibwa ku byonna ebinaddirira.

Minisita wa Kabaka ow’ebyobulamu, Nelson Kawalya yagambye nti okuggyako Gashumba okwekwasa, ssente ezaamuwebwa oba zaalaga z’alinawo zimala okuyamba Nabukeera ng’ali mu Amerika gy’alina okulongoosebwa.

“Nsaba gavumenti eveeyo n’amaanyi bavunaane Gashumba era anoonyerezebweko kubanga eggwanga lirina okwewala abantu nga bano abajja n’ekigendererwa eky’okuyamba abali mu buzibu ate ne babaleka mu bbanga” Kawalya bwe yategeezezza.

Gashumba yalangiridde bw’avudde mu bya Nabukeera oluvannyuma lwa Sofia Nakandi (maama) wa Nabukeera okusaba eby’okutwala omwana mu Amerika babiveeko olwo ssente zimuweebwe azimbemu enju, Nabukeera mw’anaabeera.

Gashumba yategeezezza nti ssente alinawo obukadde 25 z’ayagala okugabira aba Sanyu Babies Home e Namirembe n’aba Katalemwa Cheshire Home. Omusumba Atanansi Kiriggwajjo ow’amakanisa ga City Of Jesus yagambye nti obukadde 25, ezo ssente nnyingi nnyo kubanga bagulako tikiti za nnyonyi ezisigaddewo kubalabirira.

Eddwaliro lya Shriners Hospital for Children e Galvaston mu Amerika lyakkiriza okulongoosa Nabukeera ku bwereere, ng’ekyetaagisa  ze ssente z’okulabirira abamujjanjaba mu kiseera ky’anaamala mu Amerika. Omukisa gw’okujjanjaba Nabukeera kuggwako mu October 2010 lw’aliweza emyaka 18.

Kiriggwajjo yagambye nti obukadde 25 zenkana doola 13,000. Tikiti y’ennyonyi okugenda Amerika n’okudda eri wansi wa doola 2,000, bwe baba bagenda basatu (Nabukeera, Gashumba ne Nakandi) kyetaagisa doola 6,000 (mu za Uganda ezo teziwera bukadde 12).

Baba basigazza obukadde 13 ezo zaakulya n’okubalabirira nga bali mu Amerika okumala omwezi gumu. N’agattako nti Gashumba alina okulaga ky’ayagaza ssente endala ezisukka ku bukadde 25, era bwe banaagenda mu Amerika ye Kiriggwajjo amanyiiyo Bannayuganda abasobola okuyamba okubalabirira.

Sarah Mukasa ow’e Bukesa: Gashumba bw’ataatwale Nabukeera avunaanibwe kubanga abantu bamanyi nti mu Uganda mulimu abaana bangi abetaaga obuyambi, kyokka zino ssente baazisondera Nabukeera so si baana abo. Tetusobola kukkiriza Gashumba kukozesa ssente ye nga bw’ayagala.

Hellen Ssanyu: nnakolako ne Gashumba mu kitongole ekimu mu biseera by’okuyamba Nabukeera nange nnewuunyizza  okuwulira nti ebya Nabukeera bikyalanda. Gashumba by’atandise okukola biraga nti yandiba nga yalina ekigendererwa ekirala.

Abasawo b’e Mengo Christine Nakazibwe ne Loy Kabanda: Okuddira ssente za Nabukeera n’oziwa abatalina mwasirizi olw’okuba nnyina w’omwana akusabye zizimbe ennyumba kiraga Gashumba bwe yava ku mulamwa. Maama wa Nabukeera alabika naye yeekyaye ng’alaba tewali kigenda mu maaso kwe kwagala waakiri bamuzimbire enju. Ssinga Gashumba yatwala omwana ebweru tewali Nakandi we yandisinzidde kumusaba ssente kuzimbamu nju.

Ismail Nyanzi ow’e Kasubi: We twasondera ssente za Nabukeera twategeezebwa nti 2009 we gunaggweerako anaaba ateredde olususu. Gashumba ave mu kutuzannyisa. Assibweko akakiiko kabuulirize. Maama wa Nabukeera bw’awa ekirowoozo okumuzimbira enju, ggwe onyiiga bunyiizi n’olangirira kuwa ssente bakateyamba?

Merabu Kagoobya ow’e Ntebe: Bino byekwaso Gashumba abuzaabuzizza nnyo abantu ky’ekiseera alambike bulungi ebintu bino
Deo Mutebi: abaasondera Nabukeera ssente bonna tebaalina kirowoozo kya Katalemwa oba Sanyu Babies Home, baaziweerayo mu mutima gwa Nabukeera era singa wabaawo ebikyuse ssente zaabwe ziddire Nabukeera.

Grace Mukupe: Nze ng’omuzadde bintabudde era singa Nabukeera talongoosebwa, Gashumba tujja kumuvunaana asalirwe omusango ensi yonna ekimanye bw’ali omukyamu. Eggulo Gashumba yategeezezza Bukedde nti oluvannyuma lw’amasimu gaafunye n’okutuukirirwa abantu abangi abalumirirwa Nabukeera, asazeewo okuva ku bya Nakandi asale amagezi gonna okutwala Nabukeera mu Amerika.

Yagambye nti okusalawo okuwa ssente abaana abataliiko mwasirizi yabadde asobeddwa ebyavudde mu maama wa Nabukeera ate ng’alowooza nti teri ayinza kwagala mwana kusinga nnyina.Kyokka by’awulidde bimulaze nti abantu tebawagira kya kuwa Nakandi ssente, era tebawagira kuziwa baana balala okuggyako okujjanjaba Nabukeera.

Ekyo (okujjanjaba Nabukeera) kye tugenda okukola. Nabukeera asoma mu S1 mu St. Lawrence (Horizon) yayokebwa nnyina omuto e Masaka n’ayonooneka olususu.

Gashumba totuzannyirako tujja kukusiba - abantu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.