Ekizibu kye nnina kiri nti abaana mbaagala wabula sisobola kubeera nabo kuba ntya okubabonyaabonya ate saagala babeere wa musajja oyo kubanga bange.
nkoze ntya kuba kimpisa bubi ate nga mbaagala nnyo?
J.B e Namataba
Mwana wange oba okimanyi nti abaana babo kyamagezi otwale obuvunaanyizibwa okubalabirira. Abaana nga tebannaweza myaka 16 mu mateeka balina kubeera na nnyaabwe okuggyako nga talina busobozi kubalabirira. Mu butuufu oba omukyala ono asobola okulabirira abaana abo ate nga naawe osobola okubalabako n’obawa obuyambi nga taata waabwe tekirina mutawaana. N’ekirala omusajja ono simanyi oba ddala asobola okwetikka omugugu ogw’abaana abataano?
Kubanga abasajja bangi kibazibuwalira abaana abatali baabwe ate n’omuwendo nze ndaba nga munene bulala. Oba oyagala okubalabirira laba ng’embeera eri ewuwo ebasobozesa okuba mu mirembe kuba toyagala baboneebone. Simanyi oba bakyali bato.Bwe kiba kityo beetaaga nnyaabwe. Oba okufuna omukozi abeere nabo kuba balina okulabirirwa okusinziira ku buvunaanyizibwa bw’olina ku mulimu. Bwe baba basoma okyayinza okubateeka mu bisulo naye ng’okimanya balina okuwummula n’otegeka engeri gye banaabeerangamu kuba bayinza okukwonoonekako.
Abaana bange bannuma