Essabo lya Kato Lubwama, abadde alisulamu ennaku 2 mu wiiki

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde
Jun 11, 2023

Bya BASASI BAFFE

FAMIRE ya Kato Lubwama eri mu kusala ntotto ku kiki ky’egenda okukolera essabo lye erivuddeko Eklezia okugaana okumuziika mu ngeri Enkatoliki omuli okutwala omulambo gwe mu Klezia okumusomera Mmisa.

Essabo lya Kato Lubwama eriri emmanju mu maka ge amatongole e Mutundwe - Kisigula, lireese akasandali okuva lwe yafudde nga kati abafamire ye n’emikwano basala ntotto ku ky’okulikolera.

Abafamire n’emikwano baakatuula mu nkiiko nga ssatu okuteesa ku by’okuziika ng’ensonga y’essabo eryo ejja kyokka ng’enkiiko ziggwa tewali kya ssimba kisaliddwaawo ng’abamu baagala limenyebwewo kyokka abalala bakisimbira ekkuuli.

Mmemba wa famire omu ataayagadde kumwatuukiriza linnya, yategeezezza nti bwe baabadde mu lukiiko, waliwo mikwano gya Kato abaalina ekirowoozo nti essabo baliggyewo kubanga lisiize famire ekifaananyi ekibi mu Eklezia n’essuubi ly’okusabira omuntu waabwe ne libaggwaamu.

Minisita Minsa Kabanda Ng’ayogera Mu Maka Ga Kato Lubwama. Wakati Ye Mubaka Muhammad Nsereko.

Minisita Minsa Kabanda Ng’ayogera Mu Maka Ga Kato Lubwama. Wakati Ye Mubaka Muhammad Nsereko.

Wabula ekyalemesezza okusalawo ekisembayo ye Nnamwandu Ann Namatovu Lubwama, ensonga okuzeebalama nga talina ky’ayogera ne bwe bamubuuza. Kuno kw’ossa n’abamu ku baana ba Kato abakulu okuba nga tebannatuuka kuva Bulaaya.

“Katulinde abaana be bonna batuuke, ensonga bagisalewo nga famire naye byo eby’okuddamu okusoma Mmisa wano tebikyasoboka. Olaba n’enteekateeka ez’okumusomera Mmisa ku Klezia ya Matita Mulumba nabyo essuubi liringa eriweddewo...” Owa famire oyo bwe yategeezezza.

Eyali omubaka omukazi owa Masaka, Mary Babirye Kabanda era omuwanika wa Democratic Party, bwe yabadde ayogera ku pulogulaamu y’okukungubagira Kato nga bw’eneetambula, yategeezezza abantu nti eby’okusabira Kato mu Eklezia bikyali biwanvu n’asaba abali mu nteekateeka zino essira okulissa ku bintu ebirala ng’eby’Eklezia bwe babirinda.

Ensonda zaategeezezza nti bwanamukulu wa Klezia ya Matia- Mulumba yagambye nti tebalina buzibu kusomera Kato Lubwama Mmisa kasita aba famire ye banaaleeta ebbaluwa okuva ewa Cansala.

Mikwano gya Kato baagambye nti bagenda kugezaako okutuukirira Cansala okulaba nga bafuna bbaluwa eyo.

Abby Mukiibi Ng'ayogera Mu Lumbe Lwa Kato Lubwama E Mutundwe

Abby Mukiibi Ng'ayogera Mu Lumbe Lwa Kato Lubwama E Mutundwe

KATO ABADDE ASULA MU SSABO LYE ENNAKU 2 MU WIIKI
Kato nga tannazimba amaka ge amanene ago ag’e Mutundwe, yasooka kuzimbawo akayumba akatono ddala mu ttaka lye eriwerako yiika nnamba. Ku kayumba ke akatono yakookerako ‘enju ya bajjajja’ mwe yassa ekibbo ky’abalongo, effumu n’embugo ze. Yateranga n’akuma ekyoto n’akola emikolo gye egy’okusinza ‘bajjajja’.

Olwo Kato yali abeera yekka nga tannawasa mukazi era mikwano gye egy’omunda baali bakimanyi nti Kato musajja wa nzikiriza ya kinnansi kubanga nga takisa kulaga era n’okwogera nti ye eby’Obukatoliki si by’aliko.

Awo mu myaka egya 2000 nga gitandika, Kato yafuna ku ssente n’azimba amaka amanene ag’ettegula n’azimbako n’essabo ery’ebbaati, era ebintu byonna ebyali mu kayumba ka ‘bajjajja’ n’abizza mu ssabo eryo.

Mikwano gye bwe baludde mu katemba yannyonnyodde Bukedde nti Kato Lubwama abadde alina ennaku bbiri mu wiiki z’asula mu ssabo nga yeesiba olubugo n’akuma n’ekyoto.

“Buli lwe yabanga n’ekizibu oba ekimusoomooza nga mikwano gye agigamba ngenze kuwummulamu, awo nga bamanya nti agenze mu ssabo,” mukwano gwe Musa Lusembo, kkansala e Lubaga bwe yategeezezza Bukedde.

Abantu Nga Banyumirwa Endongo Mu Lumbe Lwa Kato Lubwama.

Abantu Nga Banyumirwa Endongo Mu Lumbe Lwa Kato Lubwama.

ENGERI KATO GY’ABADDE YEENYUMIRIRIZA MU BUSAMIZE
Kato Lubwama abadde teyeemotyamotya bwe kituuka ku by’okusinza n’okwenyumiririza mu ye ky’abadde ayita eddiini y’obuwangwa. Era mu mboozi ez’akafubo ez’enjawulo z’abaddemu n’abaamawulire abadde akikkaatiriza nti ye asinza ddiini ya kinnansi tali ku bya Bazungu.

“Nze nsinza ddiini ya bajjajjaffe kubanga Abazungu baatusanga n’eddiini eyaffe, era nabo balina eyaabwe ey’ekiyudaaya.” Bwatyo bwe yategeeza omu ku bannamawulire.

Olumu yatabukira munnamawulire eyakyala ewuwe ng’agenze okumuggyako emboozi ey’akafubo, n’atuuka okwagala okweyamba n’agenda emmanju w’ennyumba. Kato yajja zonna n’agamba nti; “Owaaye onoonya ki eyo, oyagala kukunkumulira bajjajja?”

Essabo Lya Kato Lubwama Mwabadde Asamirira Bakatonda Be.

Essabo Lya Kato Lubwama Mwabadde Asamirira Bakatonda Be.

 

EKYALEETERA KATO OKUGAANA OKULINNYA MU EKLEZIA
Hajji Ashraf Ssemwogerere, aludde ng’azannya katemba ne ne Kato Lubwama, agamba nti Kato mu kikula kye abadde n’obusungu ng’anyiiga nnyo era ekyamuviirako okuva ku by’eddiini, kyava ku Kato okumala P7 n’ayagala okwegatta ku ssomero lya St. Mary’s Kisubi kyokka n’alemesebwa olw’obubonero.

Nti kitaawe yagezaako okutuukirira munnaddiini omu ow’amaanyi gwe yali yasomako naye amuyambe amuwe ebbaluwa agende e Kisubi bawe omwana we ekifo. Kyokka munnaddiini oyo yagaana era n’amugamba nti omutwe gw’omwana gwe gulina okumweyimirira so si bbaluwa.

Kitaawe wa Kato nti yadda awaka ng’akkirizza bye bamugambye, naye ate oluvannyuma Kato n’akizuula nti waliwo omwana gwe baawa ekifo ate nga yali yamusinga mu bigezo. Ekintu kino nti kyamunyiiza era n’asalawo okuva ku Eklezia.

POLIISI EREMESEZZA ABASAMIZE EWA KATO
Waliwo ekibinja ky’abasamize omwabadde abasajja mukaaga n’abakazi bana abaabadde bambadde embugo n’ensiriba abaatuuse mu maka ga Kato ku Lwokutaano. Baategeezezza nti baliko emikolo gye bazze okukola mu ssabo lya Kato Lubwama, kyokka poliisi yabalemesezza okuyingira era n’ebagoberawo ddala.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});