TOP

‘Abantu baffe babonaabona’

Added 26th November 2009

“Tulumwa nnyo okulaba ng’ettaka ly’obutaka nalyo litwalibwa mu ngeri etyoboola obuwangwa bwaffe. Kyokka tetulowooza nti etteeka ly’ettaka lye linaamalawo obuzibu obwo obwekuusa  ku nguzi n’abalina obuyinza okubweyambisa obubi,” ekiwandiiko kya Mmengo eyassiddwako omukono  Minisita w’

“Tulumwa nnyo okulaba ng’ettaka ly’obutaka nalyo litwalibwa mu ngeri etyoboola obuwangwa bwaffe. Kyokka tetulowooza nti etteeka ly’ettaka lye linaamalawo obuzibu obwo obwekuusa  ku nguzi n’abalina obuyinza okubweyambisa obubi,” ekiwandiiko kya Mmengo eyassiddwako omukono  Minisita w’ebyamateeka,Apollo Makubuya bwe yagambye.

N’agamba nti  eggwanga era limanyi bwe waliwo abeebibanja  abatwalira amateeka mu ngalo ne batemula bannannyini ttaka. N’alaga okutya nti etteeka mu kifo ky’okuyamba abeebinja liyinza okusajjula embeera eyo ey’abeebibanja okutwalira amateeka mu ngalo.

Yagambye nti ekinaamalawo okusengula abantu mu bukyamu, kwe kussa mu nkola amateeka agaliwo. Mmengo yajulizza   Konsiti-tyusoni akatundu 237 ((8) n’etteeka ly’ettaka erya 1998 ebiwa obukuumi abeebibanja abatuufu abaasenga ku ttaka era nga waliwo n’emisango ebiri egyasalwa gye buvuddeko okukakasa ensonga eno.

Ekiwandiiko kiraga nti etteeka eriteesebwako lyandibadde lirindako okutuusa ng’eggwanga limalirizza okussaawo enkola ku byettaka eya National Land Policy. Enkola eyo kwe kwandiisinziddwa okukola etteeka bwe kyandizuuliddwa nga kyetaagisa.

Kyayongeddeko nti era ebbago ly’etteeka lino lyongera okuleetawo ekizibu ekinene naddala ku ttaka eryaggyibwa ku Buganda okuli n’erya mailo 9,000 eritanaddira Mmengo nga kigenda kuba kizibu nnyo okuligobako abantu abalyesenzaako mu bukyamu.

“Twagala n’etteeka ly’ettaka erya 1998 eryalemwa okukola lissibwe mu nkola. Ebbago ly’etteeka eppya eriteesebwako terijja kuba na mugaso singa ekkadde erya 1998 terissibwa mu nkola. Era n’okuddira obuyinza bw’obukiiko bw’ettaka ku disitulikiti ne buweebwa minisita w’ebyettaka nakyo tekijja kumalawo bizibu bya ttaka,” ekiwandiiko bwe kigamba.

Kyongera nti okufaananako n’abantu abalala n’ebitongole eby’enjawulo mu Uganda, Obwakabaka bwa Buganda bwawakanya ebbago lino era ne buwaayo ebirowoozo eri akakiiko ka palamenti akakola ku by’amateeka nti kyokka ekyennaku kirabika ng’akakiiko kano tekaatunula kimala mu nsonga Mmengo ze yawaayo.

Ate Minisita w’Ebyamawulire e Mmengo, Peter Mayiga yannyonnyodde nti Mmengo ekyasibidde ku kyasalwawo Obwakabaka bwa Buganda era kyabadde kikyamu nnampala wa Gavumenti Daudi Migereko ne Minisita w’Ebyettaka, Omara Atubo okugamba nti Katikkiro wa Buganda  yakkiriza okuteesa ku bbago ly’ettaka kugende mu maaso.

‘Abantu baffe babonaabona’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...

Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Nrm Justine Kasule Lumumba ng'ayogera mu lukung'aana lwa NRM

Aba NRM bawagidde enkola y'...

EKIBIINA kya NRM kiwagidde enteekateeka y’akakiiko k’ebyokulonda ey’okuwera enkungaana mu kampeyini z’akalulu ka...

Bannakalungu mudduke abatab...

SSENTEBE w'akakiiko akalwanyisa COVID 19 era omubaka wa Gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza awabudde...