TOP

Ayogedde abagagga 30 abagoba abantu ku ttaka

Added 18th November 2009

Vincent Nyanzi akiikirira Busujju era Minisita alondoola ebyenfuna yagambye nti amagombolola gonna ana (4) agali mu kitundu ky’akiikirira  eriyo okusengula abantu. Abasengula abantu kuliko n’eyali Ssaabalangira Besweri Mulondo.

N’agamba nti abantu baasooka kuwakanya tteeka, kyokka bw

Vincent Nyanzi akiikirira Busujju era Minisita alondoola ebyenfuna yagambye nti amagombolola gonna ana (4) agali mu kitundu ky’akiikirira  eriyo okusengula abantu. Abasengula abantu kuliko n’eyali Ssaabalangira Besweri Mulondo.

N’agamba nti abantu baasooka kuwakanya tteeka, kyokka bwe lyayimirizibwako kyawa omukisa abaali basoose okuliwakanya nabo okutegeera omugaso gw’etteeka nti lizze kuyamba bbo.

Bino yabyogeredde mu palamenti eyabadde eteesa ku bbago ly’etteeka ly’ettaka eggulo.

Kyokka abamu ku babaka   abava mu bukiikokkono n’obuvanjubwa bwa Uganda baanenyezza aba Buganda olw’okwetemaatemamu ne balemwa okuba n’eddoboozi eryawamu ku tteeka ly’ettaka.

Kino kyaddiridde  ababaka ba Buganda abasinga   okubulawo mu palamenti ng’eteesa ku tteeka lino ekkulu.
Abava mu Buganda  abaayogedde ku tteeka abamu baaliwagidde abalala ne baliwakanya.

“Ffe  abava mu bukiikokkono n’obumu buvanjuba , tusobodde okusuuza gavumenti akatundu  mu tteeka ly’ettaka akatukola obubi  kubanga tukolera wamu.  Kyokka Buganda erina ababaka 70 kyokka mu Palamenti temuwera wadde 10”, Nandala Mafaabi bwe yagambye.

Bino byabadde mu Palamenti eggulo  ng’ababaka bakubaganya ebirowoozo ku bbago ly’etteeka ly’ettaka. Omubaka John Odit ye yasoose okusomooza ababaka abava mu Buganda nti tebalina kye bakozeewo kufuna ddoboozi lyawamu ku tteeka lino so nga lisinga kukwata ku bo.      Yabawadde amagezi okugenda mu lusirika baveeyo n’eddoboozi limu kibawonye okuswala nga bakubagana empawa ku tteeka.

Anthony Yiga (NRM Kalungu West) eyagambye nti kimuluma okulaba ng’ababaka ba Buganda teboogeza doboozi limu. Wabula yawagidde etteeka n’agamba nti lyetaagibwa okulwanyisa omuze gw’okusengula abantu ku bibanja byabwe. Yasabye ensawo enaasobozesa abasenze okwegula essibwengamu obuwumbi 100 buli mwaka.

Mathias Nsubuga (DP Bukoto North) yagambye nti ab’akabondo ka Buganda bwe baasisinkana Pulezidenti, baamulaga ebituli ebirimu era ne balonda bannamteeka babiri; John Kawanga ne Peter Nyombi babizibe.

 “Ekyatwewuunyisa olwaddako Pulezidenti yayita ba NRM Buganda bokka, era eno y’ensonga lwaki tukubagana empawa,” bwatyo bwe yategeezezza.

  John Kawanga (DP ekibuga Masaka) yatapuse amateeka n’agamba nti ebbago teryajjiridde kugonjoola bya ttaka mu Uganda nti wabula liri ku nkolagana wakati wa bannannyini taka n’abasenze baabwe nti kubanga etteeka lya Idi Amin lyaggyawo obwannannyini ku ttaka n’obwannannyini ku bibanja, nti newankubadde Ssemateeka wa 1995 yazzaawo obwannannyini ku ttaka, teyazzaawo bwannannyini ku bibanja.

Sam Njuba (FDC Kyaddondo East) yagambye nti okuva ekitundu 32B lwe kyaggyiddwa ku bbago, kati liri ku mayiro mu Buganda. Wabula Minista omubeezi avunaanyizibwa ku kukulakulanya ebibuga  Urban Tibamanya (NRM Kashari) n’amuwabula nti ne mu Ankole, ne Tooro nayo waliyo ery’obwannannyini. Njuba yakikkirizza n’agamba nti nalyo lya Mayiro.

Haji Hussein Kyanjo (JEEMA Makindye West) ne Lulume Bayiga (Buikwe South) bawakanyizza nnyo ebbago lino ne bategeeza  nti ligenderera kunafuya bannannyini ttaka okufaanana nga bannannyini malundiro bwe baanaafuyizibwa ne gatwalibwa abasenze.

Christopher Kibanzanga (FDC Busongora) ne Winnie Kiiza (Mukazi Kasese –FDC) baaweze nti abantu b’e Kasese tebagenda kusasula busuulu nti muntu yenna kubanga tebalina landiloodi gwe bamanyi era n’awa gavumenti amagezi okuzimba amakomera mangi e Kaseese n’e Bundibugyo  mwe banaasibira abantu abanaajjema okuwa obusuulu

Maj. Tom Butime (NRM Mwenge North) yalisanyukidde nnyo okujjukira abasenze n’agamba nti y’enaaba entandikwa ya gavumenti okweddiza obwannannyini mu kifo ky’abantu ab’olubatu.

William Nsubuga (NRM Buvuma) naye yaliwagidde  kubanga ab’ettaka bagobaganya abebibanja olw’okuba baazira obusuulu obwa 1,000/- buli mwaka ate obukiiko bw’ettaka ne butaweebwa nsimbi kugereka bulala.

Ayogedde abagagga 30 abagoba abantu ku ttaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...