TOP

Samona ne Walukagga batabaganye

Added 17th November 2009

Tebakomye awo wabula bategeka ekivvulu makuge Walukagga mw’anategeereza abantu nti mu nnyimba ebbiri ezivuddeko akabasa olwa Tuleppuke ne Bwiino w’Omutembeeyi yali tayimba ku mugagga Kasawuli era mu kivvulu muno Walukagga eyeeyita ‘Eversmart’ asuubirwa okuwaana ebizigo bya Samona era akub

Tebakomye awo wabula bategeka ekivvulu makuge Walukagga mw’anategeereza abantu nti mu nnyimba ebbiri ezivuddeko akabasa olwa Tuleppuke ne Bwiino w’Omutembeeyi yali tayimba ku mugagga Kasawuli era mu kivvulu muno Walukagga eyeeyita ‘Eversmart’ asuubirwa okuwaana ebizigo bya Samona era akubirize abantu babigule.

Kino kiddiridde Walukagga n’omugagga Samona okutuuzibwa omuyimbi Bobi Wine n’abayimbi abalala okumalawo okusika omugwa okubaddewo.

Looya wa Samona, Ambrose Tebyasa yagambye nti bakkiriziganyizza ku bintu bingi ebiyamba enjuyi zombi kyokka waliwo obutono obukyabulayo balyoke basse omukono ku ndagaano.

Ate Walukagga yagambye nti ensisinkano yaabwe ne Samona ku Mmande yabadde yamugaso nnyo era bagenda kukolera wamu ebivvulu mu December mw’anayongera okukakasiza abantu nti ebizigo bya Samona tebirina mutawaana era ssi gwe yali ayimbako.
“Ffenna tuli basajja Baganda. Twabadde tulina okutuula wansi tuteese tulabe ekisinga. Nayongedde okukakasa omukulu nti siyimba ye”, Walukagga bwe yategeezezza eggulo.

Ayongerako nti mu birala ebyakkiriziganyiziddwako mwabaddemu okukola endagaano ya myaka ebiri nga Samona y’asasulira ebivvulu bya Walukagga era nga buli kifo we binaabeera, kkampuni ya Samona ejja kubeera etimba ebipande okuli obulango bwayo.

“Ekivvulu ekisooka kya kubeera mu kisaawe e Nakivubo nga December 6, omwaka guno era kino kye kigenda okutugatta. Abayimbi bonna bagenda kubeerayo,” Walukagga eyabadde omusanyufu bwe yagambye.

Ekyo bwe kinaggwa, Walukagga yagambye nti bagenda kutalaaga eggwanga lyonna nga batangaaza abantu nti ennyimba ze tezivuma bizigo bya Samona era tebirina mutawaana gwonna ku bantu nti era omuntu gwe yali ayimbako yali mulala.

Gye buvuddeko omuyimbi Walukagga yabadde alayidde nti tayinza kuteesa na Samona kyokka yemenye n’amusisinkana ewa Bobi Wine e Bukoto ku lunaku lwe lumu kwe yabadde alina okusisinkanira Katikkiro wa Buganda J.B walusimbi  e Mmengo.

Samona yawawaabira Walukagga mu kkooti olw’okugezaako okumuggyamu enguzi ya bukadde 60 obutafulumya luyimba lwa Bwiino w’Omutembeeyi. Walukagga yasindikibwa e Luzira wiiki ewedde kyokka ne yeeyimirirwa.

Omuyimbi Bobi Wine eyabagasse yagambye nti baafubye nnyo okumalawo olutalo kubanga lwabadde lwakufiiriza n’abayimbi abalala. Laba ne P.6.

“Nze mwana okuyingira mu bintu bino namaze kulengera wala, naffe abayimbi abalala abagagga bayinza okutandika okutulaba obubi ate nga be bamu kubatuyamba mu miziki gyaffe n’olwekyo wateekwa okubaawo entegeeregana nabo,” Bobi Wine bwe yategeezezza.
     

Samona ne Walukagga batabaganye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....