Baakung’aanidde ku kitebe kya Disitulikiti ku Lwomukaaga ne balonda abakulembeze omwabadde omubaka Muhammed Kawuma (kibuga Ntebe) ku bwa ssentebe nga tavuganyiziddwa.
Kansala Zziwa Lwanga (Kira) ye yalondeddwa okumumyuka ate munnamawulire Mukiibi Sserunjoji n’alondebwa okubeera omwogezi w’ekibiina ng’amyukibwa Paul Nsibambi.
Abalala kuliko: George William Ssemukasa (muteesiteesi), Cyrus Kasaato (amumyuka), Rose Ssegujja (bakyala) ng’amyukibwa Betty Naluyima, Farouk Ssebandeke (bavubuka) ate Simon Nsubuga y’amyuka omuwanika.
Okulonda kwakubiriziddwa akulira eby’okulonda mu DP mu Wakiso Simon Mwebe.
ATE e Mityana luke kagiri agamba nti okulonda kwa DP okwabadde ku mbuga y’e Ggombolola e Busimbi kwawedde nga ssentebe, Haji Badru Mutesasira azziddwaako ate kansala Ssaalongo Faustine Mukambwe n’alondebwa okumumyuka.
Abalala abalondeddwa kuliko: Kyeyune Kitikyamuwogo abadde omumyuka wa Ssentebe ng’ono yalondeddwa okubeera omwogeezi w’ekibiina.
Kansala Harriet Mulumba ne Susan Nabuuma baalondeddwa ku bukulembeze bw’abakyala ate Maria Gorret Babirye ye mukiise w’abakyala ku lukiiko olunene.Â
Kyeyunne ng’ayogerako ne Bukedde oluvannyuma lw’okulonda kuno yagambye nti abaalondeddwa baakuddamu okusengejjebwa mu nkola eya ‘kamyufu’.
MU Kampala Central Angel Lubowa ne Henry Ssenyondo bagamba nti okulonda kw’abakulembeze ba DP kwagenze okuggwa ng’abawagizi baggyeko John Ssebaana Kizito ku bwa ssentebe ekifo ne kitwalibwa Vincent Mayanja. Wasswa Ziritwawula eyaliko Ssentebe wa Kampala Central yameggeddwa.
Mayanja amyukibwa kansala John Mary Ssebuwuufu ate eyaliko Ssentebe w’Eggombolola y’e Makindye, Deo Kijjambu ye muwandiisi.
 Kijjambu ayambibwako Sula Kidandala ate Charles Kyagaba yalondeddwa ku buwanika. Kansala ku lukiiko lwa LC 5, Dr. Kiwanuka Mayambala yalondeddwa ku buteesiteesi ate Hadija Nassanga ye w’abakyala.
 Ssentebe wa LC 3 e Nakawa, Protazio Kintu ne Wasswa Ziritwawula tebabakombezza ku kalulu.
Â
  Â
Â
Â
Â
Â
Â
Â
Â
Â
Ssebaana ne Ziritwawula babasudde mu kulonda kwa DP