TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuliro gusaanyizaawo akatale k’oku Kaleerwe

Omuliro gusaanyizaawo akatale k’oku Kaleerwe

Added 12th November 2009

Omuliro guno gwatandise ku ssaawa 7:00 ez’ekiro ekyakesezza Olwokuna nga gwatandikidde mu kibanda kya firiimu ekiri mu katale kano oluvannyuma ne gusaasaanira obuyumba bw’abasuubuzi ne busaanawo.

Poliisi ezikiriza omuliro we yatuukidde ng’ebintu ebibalirirwamu obukadde bw’ensimbi

Omuliro guno gwatandise ku ssaawa 7:00 ez’ekiro ekyakesezza Olwokuna nga gwatandikidde mu kibanda kya firiimu ekiri mu katale kano oluvannyuma ne gusaasaanira obuyumba bw’abasuubuzi ne busaanawo.

Poliisi ezikiriza omuliro we yatuukidde ng’ebintu ebibalirirwamu obukadde bw’ensimbi omuli bodaboda, engoye z’abasuubuzi, ttivvi, ensawo z’amanda 100, enkoko 120, firiigi,  750,000/- nga bimaze okusaanawo.

Akola nga ssentala w’akatale kano, Difas Bbosa yategeezezza nti abasuubuzi abaafiiriddwa ebintu kuliko Ssaalongo Muteesasira, Sarah Nakandi, Muwanguzi Badru, Samahongo Musoga n’abalala.

Abaserikale abazikiriza omuliro baategeezezza nti omuliro guno gwandiba nga gwavudde ku masannyalaze kyokka ng’okunoonyereza ku kyagenda mu maaso.

Omuliro gusaanyizaawo akatale k’oku Kaleerwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...

Basse owa S3 ne balagirira ...

ABATEMU babuzizzaawo omuwala owa S3 okuva mu maka ga bakadde be ne bamusobyako oluvannyuma ne bamutta, omulambo...

Luzinda

Desire Luzinda tatudde!

OMUYIMBI Desire Luzinda abamu gwe baakazaako erya ‘Kitone’ naye nno tatuula. Bwe yabadde agogera ku bulamu bwe...

Kenzo

KENZO: Ayambalidde abamulan...

BWE yatuuse ku bamuvuma olw’okusisinkana Pulezidenti Museveni n’okumulangira okulya ssente, Kenzo yakangudde ku...