TOP

Walukagga atenda ekkomera!

Added 12th November 2009

EKITUNDU EKISOOKA
Erinnya Walukagga litegeeza bwe nnina okukaga
Mwebale kunsabira mbadde Luzira
Nga bwenkomyewo nsaba mundage amaanyi
Muneerabize agazibu gali.

Totyanga kubonaabona kasita ssi kufa
Lowooza Lazaalo mu bunakubwe eyali omuwejjere n

EKITUNDU EKISOOKA
Erinnya Walukagga litegeeza bwe nnina okukaga
Mwebale kunsabira mbadde Luzira
Nga bwenkomyewo nsaba mundage amaanyi
Muneerabize agazibu gali.

Totyanga kubonaabona kasita ssi kufa
Lowooza Lazaalo mu bunakubwe eyali omuwejjere nga talina nsimbi
Nti ennaku ekeera n’emusesema
Kale yalabirawo ng’eyayitibwanga omwole
Atuuse mu bitiibwa ebitavujjana kakati atudde ku ddyo
Ewa nnyini kuwumbaffe bbo abaali abagagga bali ku kkono.
Ekyo nkikoze bwentyo nga yentanda
Kwe kugumya nti ensi eno erina engeri
Gyetuvungisamu naye, sabba naye
Bizibu bya kuba tuttumu
Gwe bantumira oggenda e Luzira.

Gyembadde eyo okumala ate ebbanga naye bannange ekintu kkomera
Abaana bammwe bali mu geyeena eyo.

Mukama kyemusaba kwe kwanguwa ajje.
Mirembe nno mwe abaganteze obwedda
Abatiini n’abazeeyusemu ennamusa ennungi evudde
Mu muntu Mathias Walukagga nga nzaalwa Masaka.

Kibuuka ye yalambula balwadde abo
N’ebizibu byabwe n’abitottola
Nze kati abasibe be nnabaddemu
Ndeese bwino w’ekkomera  nsaba olindeko.

EKIDDIBWAMU
Ndabula akwagaliza ekkomera ddala
Akwagaliza ntaana
Olinjulira lwolitwalwayo
Nti ekkomera geyena ya kunsi.

EKITUNDU EKYOKUBIRI
Gwekitannagwako omusisinkana alatta
Ng’obugere abumansula kuli nga bwakinagguka
Nze ekintwaza amazima nsibwe
Nange bwenalinga nkimanyi nno ntyo
Nze atali mubbi yadde n’obuzeezeze obundi kumbe
Luno olugero atannaba kuva mu dduniya
Nalugattako gwotannakaddiya
Nasoose Makindye ne nsangayo kkooti amangu
Nga ntwaalwa Luzira gye nasanze n’abaabulwako abaabwe
ng’ennaku ebafenkenya kufa.

Ng’enjala ebalumye ne bakongola  enviiri
Ken Ka Pirippini.
Ate nga lazima olina kulya kitawe There is no Option
Nti naalya kin.

Nasanzeeyo ab’embiro Speed Speed abamu obubuto
Nebubengera osanga banyumya
Abayita ba muzeeyi abaali abato bakaddiye lwa mbeera ya kulya.
Nasanze abasibe abawera nga birimu
Room akatini okufa
Nga buli omu asitamye ku munne
Bambi mbu olwo abagagga bawummuddeko.

Begwiira wansi bambi ku seminti abamu n’okwebikka
Nebakweddira
Abalala mu bigoye ebyo ebisensuse okkamala kyokka ennaku zisanga musibe
Banywera mu bikopo ebigubye  nga yinzi
Bwebatyo nebye baliiramu
Ate nga bambi balwaala nebafiirayo

EKITUNDU EKYOKUSATU
Gwe nno eyepankirira mu buyonjobwo gendayo emitayimbwa
Ebyo tegibimanyi
Wali ensekere ggwe abasula nga embizzi
Nemweyagula okuyuza ensusu.
Bbyo eby’esula mu makomera bambi
Musulanga ddala bagwi baddalu ennyo abateebaka nebafuuwa enjaye
Mpaka obudde kejenge.

Mwe nno abatajinywa ne mujula okwetta
Nga yonna room eccuuma buyaga
Kwossa ebiddoli ebijudde attabbu oh bwe byegatta n’ojowulira.
Eky’ennaku ate nebakeezebwa bambi nga
N’obudde obwo tebunakya bonna ku forren nebakwasibwa
Enkumbi nebakya jembe nebabuzibya.

K’okinyegako nti ndi mulwadde nze
Empiso zeri ng’ogabana obuti
Ezankabadde empeke kyekyokulya tofuna
Eby’okulwaala tonyumya
Fuba nnyo okulaba nga omalako ensi eno
Oleme kufuuka musibe
Ne basibe banno bakugombamu obwala olw’ebbula ly’amagezi
Nabawuttula.

Gwenno okyayinza okuba nti okubeera eyo kale bbaayi
Nze njakutwaalayo kyokka eyabba enkoko n’eyasobezza ku kaana
Eky’ennaku musibwa wamu.
Aba Madder Case abattisa emmundu ebiso ebiyinja ku nzigi
N’abasibibwa olw’empalana nga nze bebawaayiriza
Abasangayo.

Nasanzeyo eyo abasibiddwa emyaka
Mingi mingi  nga bakaddiyiddeyo ng’oyo nebwomuyimbula
Atere addeyo ewaabwe akuddamu nti ntandikirewa
Eky’omutawaana ekisingayo ndwadde
Ab’ebifuba omusujja n’omutwe
Kizibu nnyo okuwona , ensula yaayo mboofu mazima n’obumyu
Bwandyeyagalako.

Abalwadde b’amabwa agawezezza emyaka kumpi nga gafuuse kokolo
Kyokka ne mutuula wamu mu budde bw’okulya.
Kiri mu kkomera azibye amaaso nti lengera ebyo
Bwe bifaananye nga baakoledde emigugu oyanguwako
Okugisiba ogamba nti bbomu zezibwatuse.

EKITUNDU EKYOKUNA
Teri ddembe okujjako ennaku mpaawo
Kalungi ab’emikwano mu makomera
Nze lino ebbanga lyenamazeeyo matidde kati nebwonsooza
Newugulamu.

Nze ekyannyambye nagenze nina erinnya
Abasibe n’abakulu abo nga bammanyi
Saalimye yadde okwelako ku lujja Katonda w’abaavu yakinkoledde
Nasulayo lumu nenkwaasibwa obukulu bwa jail asyitibwa ccacci
Mpozzi nga bwolaba mu masomero eyo head Prefect.

Emirimu gyaliko
Okuyimba bwekuli akalombolombo eyo nayise na kuyimba
Nenkoloobya kata abasibe abo mbamaleko emaali.
Nga anti bakuba Anko buli lwempunzika.

Ekabulamuliro ewatamanyiirwa
Eyo abannumirwa nemujja nasiima nnyo nnyo era nensaba omukama abampeere emikisa nate.
Bwoba mu buzibu wotegeerera emikwano egikulimbalimba
Nengikakasa bennali nesiga nga mbayita nga abange.
Mpaawo lazima yalinnyayo.

Ntuusa okusiima kwange eri mmwe mwenna abeeyiye ku kooti.
Ngera kyemmanyi mulumwa esaala n’amaziga gemwankaabidde
Bwebuwanguzi omukama bwanengeza.

Shamira ne Hanifa bambi mwandaze omukwano Jakie ne Abtex eh ne Rashida
Kenzo na Zion mwakoleyo efujjo nga era bwomanyi
Ebintu byaba Celeb.

Nabalala bangi sijja bbamenya olw’obudde obutono okufa
N’abaakola ekisoboka ntere nsibwe nsuubira lyali ssanyu  lyammwe.
Mbalangira.

Mwejeemu emyoyo egyempalana nga egyo ye buliba obuzibu
Bubasangawa kaneerekereze
Eby’ekkomera bye ndidda n’omusuubuzi omugeye.
            

Walukagga atenda ekkomera!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...