TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kyennyamiza okukwata eky’oku mwanjo mu bubenje

Kyennyamiza okukwata eky’oku mwanjo mu bubenje

Added 9th November 2009


AMAWANGA agasangibwa mu kitundu kino ekiyitibwa Great Lakes Region nga geetooloddwa ennyanja omuli Nalubaale, Tanganyika, Albert n’endala mulimu, Uganda, Kenya, Tanzania, Burundi ne DR Congo.

BINO byayogeddwa omukungu omu owa kkampuni ya yinsuwa eneeyambanga badereeva ne bakondakita


AMAWANGA agasangibwa mu kitundu kino ekiyitibwa Great Lakes Region nga geetooloddwa ennyanja omuli Nalubaale, Tanganyika, Albert n’endala mulimu, Uganda, Kenya, Tanzania, Burundi ne DR Congo.

BINO byayogeddwa omukungu omu owa kkampuni ya yinsuwa eneeyambanga badereeva ne bakondakita abanaabanga bafunye obubenje.

EKYA Uganda okukwata ekyokubiri mu kitundu mu kugwamu obubenje kitegeeza nti era Ugana ekwata ekifo ky’ekimu oba okusingawo mu kufiirwa abantu kubanga obubenje bw’oku nguudo bungi bufiiramu abantu.

OBUBENJE buno bufiiramu abantu ab’omugaso eri eggwanga oba abagenda okuyamba mu kulizimbwa okugeza mutabani w’omumyuma wa Pulezidenti Gilbert Bukenya eyafudde oluvannyuma lw’okufuna akabenje. Brian Bukenya yafudde akyali mu myaka mito nnyo nga yaakayingira amagye era eyandibadde ow’omugaso eri eggwanga.

WALIWO amateeka agazze galeetebwa gavumenti okugezaako okukendeeza obubenje naye ng’ebintu by’eggwanga lyaffe bwe bizze bibeera gafiira awo.

ETTEEKA ly’okusiba enkoba naddala mu bbaasi ne takisi tewali amanyi gye lyalaga. Takisi ne bbaasi ezisaabaza abantu era wajjawo etteeka eriragira zibeemu obuuma obukendeeza sipiidi kyokka lyagenda lyongezebwayo okutuuka nalyo bwe lyafiira awo.

GAVUMENTI bw’eba ey’okukendeeza obubenje mu ggwanga erina okulaba nti amateeka g’ereeta egakwasisa n’obukambwe awatali kufa ku byabufuzi.

Kyennyamiza okukwata eky’oku mwanjo mu bubenje

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...