TOP

Enkuba efudemba ogyetegekedde?

Added 28th October 2009


Esuubirwa n’okuyingira emyezi gya January ne February 2010 egitera okuba emikalu. ENKUBA etandise okutonnya kati kandiba kabonero akalaga nti enkuba eno eyalabulwako etandise.

ENKUBA efudemba erina oludda olulungi n’olubi. Mu ludda olulungi kwe kuba nti amazzi geeyongera mu nnyanja n’


Esuubirwa n’okuyingira emyezi gya January ne February 2010 egitera okuba emikalu. ENKUBA etandise okutonnya kati kandiba kabonero akalaga nti enkuba eno eyalabulwako etandise.

ENKUBA efudemba erina oludda olulungi n’olubi. Mu ludda olulungi kwe kuba nti amazzi geeyongera mu nnyanja n’emigga mpozzi n’akatale k’emmere mu bitundu ebiba bikoseddwa amataba gano.

KU ludda olubi mulimu abantu okufiirwa obulamu n’ebintu okwonooneka, okukosa ebyentambula ng’enguudo zisaanyiziddwaawo ate mu bitundu ebirala ebya Uganda eby’ensozi nga Bundibugyo, Mbale, Manafa, Kapchorwa, Kisoro ne Kabale yo ettaka likulugguka ne libuutikira abantu wamu n’enguudo.

MINISITA avunaanyizibwa ku bigwa bitalaze, Polof. Kabwegyere yagambye nti minisitule ye tetuulidde awo. Emaze okwetegekera engeri gy’enaayambamu abanaakosebwa nnamutikkwa w’enkuba eno n’amataba gennyini. Kyokka n’asaba n’abantu nabo okwerinda nga bukyali.

MINISITULE eno ebadde erabula abantu abali mu bitundu eby’entobazzi nga Bwaise, Namasuba, Kaleerwe n’awalala okusenguka ng’obudde bukyali bagende mu bifo eby’oku nsozi okwewala amataba gano.

KYOKKA Omuganda agamba nti awagwa enkuba waagala ssooli n’olwekyo abali mu bitundu omutali mataba enkuba eno basaana bagikozese okusimba emmere naddala eyo esobola okukula mu biseera by’enkuba.  

Enkuba efudemba ogyetegekedde?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bugembe ng'abuulira enjiri mu kusabira omugenzi Yiga.

Jjengo tolwana ntalo za kit...

Omusumba w'Ekkanisa ya Worship House e Nansana akubirizza Omusumba w’Ekkanisa ya Revival Christian Church Kawaala,...

Abakuumaddembe nga bakunguzza omuvubuka.

Abaabadde bakola effujjo mu...

Abavubuka abaagenze mu kuziika omugenzi Pasita Yiga Abizzaayo e Kawaala ku Lwomukaaga kyokka ne badda okunoonyeza...

Abatuuze nga basobeddwa mu lusuku lwa munnaabwe olwasaayiddwa.

Abantu ab'ettima basaayidde...

ABANTU ab'ettima abatannaba kutegeerekeka bakakkanye ku lusuku lw'omutuuze Jane Namakula 45, ow'e Kyassenya oluwezaako...

Katikkiro Mayiga awabudde a...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Omuntu anaakulaakulana alin...

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya...