TOP

Omulamuzi agaanyi obujulizi bw’essimu

Added 27th October 2009

Nyanzi ofiisi wa poliisi eyakulira okwekenneenya ebifo ewazzibwa omusango. Bino bye yategeezezza Omulamuzi Moses Mukiibi owa Kkooti Enkulu e Masaka


Stephen Wagona (Omuwaabi w'emisango gya Gavumenti): Ng’oggyeeko Kayugi, kifo ki ekirala kye watuukako mu musango guno?
Nyanzi: Nnatuukak

Nyanzi ofiisi wa poliisi eyakulira okwekenneenya ebifo ewazzibwa omusango. Bino bye yategeezezza Omulamuzi Moses Mukiibi owa Kkooti Enkulu e Masaka


Stephen Wagona (Omuwaabi w'emisango gya Gavumenti): Ng’oggyeeko Kayugi, kifo ki ekirala kye watuukako mu musango guno?
Nyanzi: Nnatuukako mu maka ga Kajubi e Gayaza-Masaka, Makerere okumpi ne LDC.
Wagona: Ekizimbe byali by’ani eby’e Makerere?
Nyanzi: Bya Kato Kajubi.
Wagona: Ani yabakulembera okutuukayo?
Nyanzi: Umar Bosco Kateregga.
Wagona: Ggwe walina buvunaanyizibwa ki?
Nyanzi: Nnali nkuba bifaananyi.
Wagona: Wagenda n’ani?
Nyanzi: Nnali ne mbega Etyang.
Wagona: Olina ekirala kye wakola?
Nyanzi: Nnakuba bifaananyi byokka.
Wagona: Olina ekintu ekirala kye wakola mu musango guno?
Nyanzi: Tewali.
Wagona: Wagendako mu kkooti yonna ku musango guno?
Nyanzi: Nga 27, November, 2008, Kopolo Migadde yafuna nnamba za ssimu bbiri okuva ku Kateregga nga twetaaga okufuna obujulizi okuva mu MTN okukakasa oba bannanyinizo baali bawuliziganya. Ku lunaku olwo nnagenda mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka ow’e Masaka, Nanteza Kikomeko okufuna olukusa lwa kkooti okufuna olukalala lw’amasimu okuva mu MTN.
Wagona: Kiki kye wafuna?
Nyanzi: Nnafuna ekiragiro kya kkooti n’obujulizi obuwandiike.
Mulamuzi: MTN erina ffoomu etongole gy’ojjuza okufuna obujulizi?
Nyanzi: Nnafuna ffoomu okuva mu MTN, gye nnalina okutwala mu kkooti ejjuzibwemu.
Mulamuzi: Ani ajjuzaamu ffoomu eyo?
Nyanzi: Ejjuzibwamu ku Poliisi, omulamuzi n’agissaako omukono.
Mulamuzi: Nnamba ki ey’omusango gye wassa ku kiragiro kya kkooti?
Nyanzi: nnamba 3403/08.
Wagona: Omulamuzi wamusanga wa?
Nyanzi: Mu ofiisi ye.
Wagona: Kiki kye wakola?
Nyanzi: Omulamuzi nnamweyanjulira ne mmunnyonnyola ensonga eyali entutte. Yandayiza nga nkutte Kulaani, bwe nnamala okulayira n’ampa olukusa era yassa omukono ku kiragiro kya kkooti n’akimpa.
Wagona: Kiki ekyaddako?
Nyanzi: Nnagenda mu MTN ne mpaayo ekiragiro kya kkooti n’ekirayiro kye nnakuba mu maaso n’omulamuzi.
Wagona: Ekiragiro kya kkooti n’ekirayiro kye wakuba bw’obiraba obujjukira?
Nyanzi: Ye ssebo, biriko amannya gange, eddaala lyange n’omukono gwange.
Wagona: (Amuweereza empapula) Weetegereze.
Nyanzi: Bye bino ssebo, kuliko ekiragiro kya kkooti n’ekirayiro kye nnakuba.
Wagona: Nnamba za ssimu ki ze wassaamu?
Nyanzi: 0772700921 (nnamba ya Kajubi) ne 0773717631.
Wagona: Okusaba kwali kuta-ndika ddi era okutuuka ddi?
Nyanzi: Okuva 15 October okuva ku ssaawa 12.00 ez’oku makya okutuuka 27 November 23, 2008.
Wagona: Ekiragiro kya kkooti wassaako ki?
Nyanzi: Nnamba y’omusango, omuwawaabirwa, erinnya lyange, eddaala lyange, Poliisi kwenkolera, ennamba ebbiri 0772700921 ne 0773717631 n’ennaku ez’omwezi okuva 15 October okuva ku ssaawa 12 ez’oku makya okutuuka 27, November 2008.
Wagona: Nnamba ki ey’omusango eyaliko ku biwandiiko byombi?
Nyanzi: MSK CRB 3403/08.
Wagona: Nsaba ekirayiro omujulizi kye yakuba kiyingizibwe.
Mulamuzi: Obujulizi mbukkiriza, ekirayiro kya Nyanzi kiyingiziddwa era kirambiddwa P3 , ate ekiragiro kya kkooti kirambiddwa P4.
Wagona: Olina ky’omaanyi ku Sim Kaadi z’essimu zombi.
Nyanzi: Nga 26 November 2008, nnatumibwa akulira bambega Rugumayo, oku-noonyereza ku masimu agaali gakubiddwa wakati w’essimu.
Wagona: Mbuuza Sim Kaadi y’essimu si masimu agaakubwa?
Nyanzi: Nnasobola kufuna ‘simu kaadi’ ya nnamba 077 3717631 eya Kateregga, yali ssimu ey’ekika kya Nokia 1208.
Wagona: Yalina Serial nnamba?
Nyanzi: Ye ssebo, ennamba sigijjukira wabula nnagiwandiika ku lupapula.
Wagona: Kiki kye wazuula mu ssimu ya Kateregga?
Nyanzi: Nnasanga ku ssimu ya Kateregga obubaka bw’essimu obulaga nti ennamba ya Kajubi 077 2700921 yali ekubiddwako nga 28 November, 2008.
Wagona: Essimu ogirina?
Nyanzi: Sigirina, erabika kkooti y’egirina.
Wagona: Bw’ogiraba okitegeera?
Nyanzi: Ye ssebo, nnagissaako obulambe.
Wagona: Bulambe ki?
Nyanzi: Kuliko erinnya Kateregga lye nnagiwandiikako.
Wagona: Lwaki wagissaako Kateregga?
Nyanzi: Akulira bambega Mw. Rugumayo yang’amba nti yali agiggye ku Kateregga.
Mulamuzi: Koma awo, kino kiragiro, Rugumayo y’ateekwa okunnyonnyola ku nsonga eyo.
Wagona: Essimu  bw’ogiraba ogitegeera?
Nyanzi: Ye ssebo, nsobola okugirabira  ku linnya Kateregga lye nnagissaako.
Wagona: (Agimuweereza).
Nyanzi: Y’eno essimu, nnagiwandiikako n’omukono gwange, nnagissaako n’obulambe 200/08.
Wagona: Ssimu erimu simu kaadi?
Nyanzi: Simu kaadi mweri, ya MTN.
Wagona: Ogambye nti wasangamu obubaka osobola okubulaga kkooti?
Nyanzi: Ye ssebo, obubaka busoma ‘Who called  nga bwaweerezebwa nga 28, October 2008  ku ssaawa 12:25, ne sikonda 33 nga buva ku  nnamba 0772700921
Wagona: Ssebo omulamuzi nsaba ssimu eyingizibwe ng’obujulizi bw’oludda oluwaabi.
Mulamuzi: Osobola okuyita Rugumayo okukakasa kkooti eno kubanga ono omujulizi si ye yagiggya ku Kateregga. Essimu siyinza kugikkiriza ng’obujulizi okutuusa ng’eyagiggya ku Kateregga (Rugumayo) azze n’akakasa kkooti. Okutuusa ng’obukakafu bufuniddwa.
Omusango guddamu nga November 5, 2009.

Omulamuzi agaanyi obujulizi bw’essimu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....