Abakiise era baalaze obutali bumativu bwe baakizudde nti Ven. Mmembe yakozesa ababalirizi b'ebitabo abaakakasa lipoota eno kyokka nga tebaalondebwa lukiiko olufuzi olw'Obulabirizi nga bwe kiteekeddwa okubeera.
Christine Mulimira atuula ku Lukiiko lw'Obulabirizi yategeezezza nti kyewuunyisa okulaba ng'ensimbi zonna eziba zikung'aanyiziddwa zikozesebwa ne ziggwaawo kyokka ng'engeri gye zisaasaanyiziddwa teyalambikiddwa bulungi mu lipoota.
Dr. Stephen Kituuka naye yalaze obweraliikirivu olw'eggwanika lya Lutikko obutasasula nsimbi za bitongole omuli eky'abavubuka, Mother's Union mu budde okubisobozesa okwekulaakulanya.
Mu  kunnyonnyola,  Ven. Mmembe yategeezezza olukiiko olwatudde e Namirembe ku Lwokutaano nti lipoota teriimu nsobi era yakakasibwa ababalirizi b'ebitabo.
Abakiise baavudde mu mbeera, nga bagamba nti ababalirizi b'ebitabo abagambibwa okukakasa lipoota eno tebaalondebwa lukiiko olufuzi olw'Obulabirizi bw'e Namirembe nga bwe kiteekeddwa okukolebwa.
 Bakkaanyizza  obutayisa lipoota eno, ezzibweyo mu ggwanika ne balagira olukiiko olufuzi okulonda ababalirizi abakugu bagyekenneenye okuzuula oba tewali nsimbi zaabulankanyizibwa.
Olukiiko lwayisizza embalirira y'omwaka ogujja ya kawumbi 1 n'obukadde 727 ezisuubirwa okukung'aanyizibwa mu ttaka, ebirabo n'emitemwa egy'enjawulo era zonna zisuubirwa okusaasaanyizibwa.
Â
Olukiiko lw’Obulabirizi lugobye lipooti y’ensasaanya