Mbadde nsuubira okusooka okufuna okunnyonnyolwa ekitongole kino ku nsonga y’abantu abasasuzibwa omusimbi ku masannyalaze ge batakozesezza n’engeri gye banaddizibwa ssente zaabwe.
Siraba we kiyambira okulaalaasa be mubanja nga ne lipoota eyafulumiziddwa akakiiko akaanoonyerezza ku mivuyo gye mulina munda akaakulemberwa Gen. Salim Saleh yalaze obubbi obufumbekedde mu kitongole kino nga mw’otwaalira n’obwamasannyalaze.
Sheila Kato
Nansana
Aba UMEME musooke mutunnyonyole nga temunnalaalaasa be mubanja