TOP

Sirina buzibu na Businga - Museveni

Added 20th October 2009

 Museveni  bino yabyogeredde mu Lubiri lw’Obusinga wa Rwezururu  e Kasese ku Mmande bwe yabadde atongoza olutuula olusoose  era nga Gavumenti  lwesoose  okubeera ku mikolo gy’okukuza emyaka 43 bukya  Omulangira Wesley Mumbere atuuzibwa ku ngoma n’asikira kitaawe.

Museveni yagam

 Museveni  bino yabyogeredde mu Lubiri lw’Obusinga wa Rwezururu  e Kasese ku Mmande bwe yabadde atongoza olutuula olusoose  era nga Gavumenti  lwesoose  okubeera ku mikolo gy’okukuza emyaka 43 bukya  Omulangira Wesley Mumbere atuuzibwa ku ngoma n’asikira kitaawe.

Museveni yagambye nti abawagizi b’Obusinga bwe baamukyalira e Rwakitura yabasaba okusooka kuggyawo obukuubagano n’enjawukana  kibayambe okubasobozesa okufuna kyebagala.

 Yagambye nti  NRM temala gatomera bintu okuggyako  ekintu ekikola mu bwegendereza okulaba ng’ekola ekituufu.

Museveni yasabye   Mumbere okugatta Abakonjo, Abamba n’Abasongora n’obutaleeta njawukana wadde okulwana  nga kitaawe wa Mumbere Isaaya Mukirane kwe yatandika  oluvannyuma lw’okugobwa  mu lukiiko lw’Obukama bwa Tooro.

 Yagumiza abatuuze b’omu bitundu by’e Kasese  Bundibugyo nti  eby’okudduka babyerabire kubanga UPDF kati bagiyita mufuntula teyeemolerwako.  Museve-ni yawadde Kabaka Mu-mbere emmotoka mwagya okukolera emirimu gye.

Mumbeere naye yasiimye Gavumenti olw’okutuukiriza ky’erudde ng’esabibwa okuva mu myaka gya 50.

Yagambye nti Obwakabaka buno bwaleetera Abakonjo okufiirwa obulamu bwabwe ne batuuka okuyiganyizibwa naye kati okulwanagana kuwedde basigazza kugatta Abakonjo  n’okukulaakulanya Obwakabaka bwabwe.

Sirina buzibu na Businga - Museveni

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ekiragiro ky'okusengula aba...

Abattakisi bagamba nti tebajja kukkiriza kuvaawo okuggyako ng’ebyabaggya mu ppaaka bimaze okugonjoolwa okuli enguudo...

Omusumba Ssennyonga mu lukiiko lwa bannamawulire.

Ssennyonga yeeyamye okuyamb...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga owa Christian life church e Bwaise asabye abakazi bonna abalina abaana b’omugenzi...

Omulambo gwa Paasita Yiga g...

OMULAMBO gwa Paasita Augustine Yiga guggyiddwa mu ggwanika ly'eddwaliro ly'e Nsambya gy'abadde ajjanjabirwa ne...

Enkuba egoyezza ab'e Kyeban...

Obuzibu abatuuze bano babutadde ku bakola oluguudo lwa Northern bypass abaayiwa ettaka mu mikutu egyanditutte amazzi...

Paasita Kyazze

Paasita Kyazze naye ayogedd...

Agambye nti Omusumba Yiga abadde muyiiya nnyo, omusanyusa era ayagala ky'akola kyokka bino byonna yandibikoze...