TOP

Ettaka lya Dr. Kiyingi bagenda kulitwala

Added 18th October 2009

Kino kiddiridde Asiimwe  okusaba kkooti y’ebyobusuubuzi emukkirize okutwala poloti za  Dr. Kiyingi satu e Buziga okuli poloti 140, 141 ne 142 eziri ku bulooka 273 e Buziga. Dr. Kiyingi yali atutte okwemulugunya mu kkooti ejjulirwamu omusango guyimirizibweko kubanga Asiimwe alinga ataliiyo.

Kino kiddiridde Asiimwe  okusaba kkooti y’ebyobusuubuzi emukkirize okutwala poloti za  Dr. Kiyingi satu e Buziga okuli poloti 140, 141 ne 142 eziri ku bulooka 273 e Buziga. Dr. Kiyingi yali atutte okwemulugunya mu kkooti ejjulirwamu omusango guyimirizibweko kubanga Asiimwe alinga ataliiyo.

We yasabira omusango guyimireko nga poloti ye emu ey’e Luzira emaze okutundibwa ku nnyondo ku banja lya Asiimwe lya bukadde mwenda.

Asiimwe yawaabira Dr. Kiyingi ng’agamba nti yamuguza taani za sseminti 85 ezibalirirwamu obukadde 70 nti kyokka n’agaana.
Wabula  Dr.  Kiyingi agamba nti takolaganangako na Asiimwe.  Poliisi n’ekola okunoonyereza n’ekizuula nti endagaano yali mpangirire era n’enoonya Asiimwe yennyonnyoleko kyokka ne yeekweka.

Akulira bambega ba poliisi mu Kampala n’emiriraano,  P.T. Katto yawandiikidde ba looya ba Asiimwe   ng’abalagira okuleeta amangu Asiimwe ku poliisi kyokka ne batakikola.

Asiimwe poliisi ya CPS  yamuggulako omusango gw’okujinga ebiwandiiko ku fayiro nnamba CPS .CRB8979/08 era anoonyezebwa kyokka talabikako ekirowozesa nti osanga taliiyo.

Dayirekita w’ekitongole ekirwanirira obwenkanya  ekya Justice and Charity  Link  Freddie David Egesa yawandikira Katto ng’amusaba akozese ekifo kye okusaba omuwandiisi wa kkooti ejjulirwamu ayimirize omusango gw’okubowa poloti za Dr.Kiyingi ezigenda okutundibwa leero ku Mamnde.

Ettaka lya Dr. Kiyingi bagenda kulitwala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....