“Singa mulemererwa okweyimirirwa mu kkooti enkulu mulina okumala ku limanda emyezi mukaaga,†Namagembe bwe yategeezezza. Ate kansala Cissy Zzimula akiikirira Omuluka gw’e Busega ku Ggombolola e Lubaga nga wa DP asindikiddwa e Luzira oluvannyuma lw’okuvunaanibwa okwenyigira mu bikolwa eby’okwekalakaasa mu kkooti yeemu.
Abalala abaavunaaniddwa baakudda mu kkooti nga October 13 ate Zzimula adda 15.
Abakulembeze ba DP okwabadde Joseph Mujuzi, Ddungu Matovu ne bakansala abalala baagenze ku kkooti nga baagala okweyimirira Zzimula kyokka ne kitasoboka.
Abeekalakaasi bali ku gwa kuyekera Gavumenti