Akulira FDC, Dr. Kiiza Besigye yategeezezza bannamawulire ku Palamenti eggulo nti aba FDC baagala kkooti etaawulula enkaayana za Ssemateeka erangirire nti akakiiko kano kaliwo mu ngeri emenya amateeka era kaggyibwewo.
 Mu ngeri y’emu yagambye nti ng’okuwulira omusango guno tekunnatandika, aba FDC baagala akakiiko kano kasooke kuyimirizibwa nga tekakola mulimu gwonna n’oluvannyuma bwe kizuulwa nti kaliwo mu bukyamu kaleme kuzzibwawo.
 Yagambye nti bangi ku bakamisona abali ku kakiiko kano tebalina bisaanyizo bibasobozesa kubeera mu bifo bino omuli okubeera abeesimbu.
FDC ewawaabidde akakiiko k’ebyokulonda