Ekitongole kya Kampala City Council kirabudde Bannakampala okwerinda ebizibu ebireetebwa amataba omuli endwadde eziva ku bujama nga kkolera.
MU kiwandiiko ekyassiddwaako omukono gwa Town Clerk, KCC yafulumizza olukalala lw’ebifo ebisuubirwa okukosebwa ennyo amataba mu nkuba esuubirwa okuba ey’amaanyi okutuukira ddala mu December.
EBIFO ebyanokoddwaayo mulimu Mutungo, Butabika, Lungujja, Nateete, Lukuli, Kiwaatule, Ntinda, Busega, Lubya, Kasubi, Kamwokya n’e Bwaise.
BULI nkuba lw’etonnya naddala mu Kampala enguudo ezisinga ziba teziyitikamu olw’amazzi okwanjaala, ate n’ebifo omusulwa abantu naddala eby’enzigotta byonoonebwa nnyo amazzi ekireetera endwadde nga kkolera okutta abantu.
EKYENNAKU nti yadde abakulembeze bavuddeyo ne balabula abantu, tebalina kinene kye bakoze okulaba nga ne bakulembera tebakosebwa nnyo mbeera eno.
ENKUBA eno tekosa bibuga byokka wabula n’ebyalo. Singa eneeninyitira, emmere ereetebwa okuva mu byalo eyinza okukendeera n’obutafunika olw’enguudo embi.
ERA enkuba bw’eyitirira eyonoona ebirime n’okusuula amayumba ebijja okukosa ennyo obulamu bw’abantu.
N’OLWEKYO kya magezi buli omu okutandika okulowooza ku ngeri gy’anaayitamu mu mataba gano n’abantu be okusinga okulowooleza mu bakulembeze kubanga emirundi mingi tebalina kyamaanyi kye bakola kutaasa mbeera ezifaananako bwe ziti.
Okozeewo ki okwerinda amataba ne kkolera?