TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ‘Bbeeyi y’amasannyalaze egenda kukka’

‘Bbeeyi y’amasannyalaze egenda kukka’

Added 22nd September 2009


“Mu kaweefube w’okulongoosa n’okutereeza ekitongole ky’amasannyalaze ekya UMEME emiwendo okusasulirwa amasannyalaze gyakukka ebitundu 40 ku buli 100 okuyamba omuntu wabulijjo,” Minisita w’amasannyalaze Hillary Onek bwe yategeezezza.
Bino minisita Onek yabyogedde ku Lwakubir


“Mu kaweefube w’okulongoosa n’okutereeza ekitongole ky’amasannyalaze ekya UMEME emiwendo okusasulirwa amasannyalaze gyakukka ebitundu 40 ku buli 100 okuyamba omuntu wabulijjo,” Minisita w’amasannyalaze Hillary Onek bwe yategeezezza.
Bino minisita Onek yabyogedde ku Lwakubiri  bwe yabadde atongoza ekyuma eky’omulembe ekyeyambisibwa okulondoola embeera y’amasannyalaze mu ggwanga  ekya SCADA ku kitongole kya UMEME  e Lugogo.

Onek yagambye nti abakulembeze ba UMEME abaaliko babadde bakyayisizza ekitongole kino eri abantu nga babaggyako ssente nnyingi eziteetaagisa ate nga n’abakozi b’ekitongole kino bakozesa obukambwe bungi.

“Umeme yali ebuzaayo emyezi mitono okuggalawo kubanga abaali bakulira ekitongole kino baali baluubirira kukola magoba mangi okusinga okuyamba abantu ne baaleeta  miita ezibala amasannyalaze nga zidduka nnyo   okusinga bwe kiba,” bwe yagasseeko.
Yagambye nti gavumenti yaakuleeta miita z’amasanyalaze ezibala amasannyalaze omuntu g’akozesezza nga zikozesa kaada gy’abeera aguze era nti bw’egwako nga geesalako gokka.

Ye ssentebe w’ekitongole kino omuggya Patrick Bitature yeeyamye okukola ekisoboka okulaba nga UMEME ekendeeza bbeeyi y’amasannyalaze ssaako okussaawo ba maneja abaggya mu bifo ebyenjawulo okusobola okutumbula omutindo n’empeereza yabwe.
 

‘Bbeeyi y’amasannyalaze egenda kukka’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...