Ekirayiro: Nze Matovu Gerald Ssaalongo, ndayira nti obujulizi bwe ng’enda okuwa mu kkooti wano bwa mazima meereere.
Wagona (omuwaabi wa Gavumenti): Obeera wa?
Matovu: Kayugi.
Wagona: Okola mulimu ki?
Matovu: Nsomesa.
Wagona: Wa?
Matovu: Kayugi P/S.
Wagona: Ki ekirala ky’okola?
Matovu: Ndi mulimi.
Wagona: Olina buvunaanyizibwa ki ku kyalo?
Matovu: Nze ssentebe wa LCI ow’ekyalo Kayugi.
Wagona: Okuva ddi?
Matovu: 2001 okutuuka kati.
Wagona: Kasirye Joseph wali omumanyi?
Matovu: Ye. Yali mwana ng’asoma ku ssomero lyange.
Wagona: Mu kibiina ki? Era mwaka ki?
Matovu: P3 mu 2008
Wagona: Umar Kateregga omumanyi?
Matovu: Ye ssebo.
Wagona: Wamumanya otya?
Matovu: Yali abeera ku kyalo kye nkulemebera.
Wagona: Ddi lwe yali omutuuze ku kyalo ekyo?
Matovu:Â Okuva 2006. Wagona: Yali akola ki ku kyalo?
Matovu: Musawo Muganda.
Wagona: Moses Makumbi omumanyi?
Matovu: Mmumanyi.
Wagona: Abeera wa?
Matovu: Njumaga.
Wagona: Kisangibwa wa?
Matovu: Mukungwe mu Disitulikiti y’e Masaka.
Wagona: Wamumanya otya?
Matovu: Mutuuze bwe tulinaanye ebitundu.
Mulamuzi: Njumaga ne Kayugi kyalo kimu?
Matovu: Bombi byalo ebyerinaanye.
Wagona: Waliwo buwanvu ki okuva e Makumbi n’owuwo?
Matovu: Mayiro ng’emu.
Wagona : Akola ki?
Matovu:Musawo Muganda.
Wagona: Okuva ewa Makumbi okutuuka ewa Kateregga waliwo bbanga ki?
Matovu: Kitundu kya Mayiro.
Wagona: Omanya oba waaliwo enkolagana wakati wa Kateregga ne Makumbi mu by’emirimu?
Matovu: Sirina kye nkimanyiiko ssebo.
Wagona: Ojjukira ebyaliwo nga 28 October, 2008 ebikwata ku musango oguli mu kkooti.Â
Matovu: Nnali waka ku ssaawa nga 2:30. Nnalaba Kateregga ne mukazi we Nabukeera bayita ewange. Waayitawo eddakiika nga 15, ow’ebyokwerinda Sebwana n’akomawo nabo. Yabaleeta ewange n’ag’amba nti omuwala Najjuka abeera ewa Mw. Mulondo amukubidde essimu ng’amutege-eza nti omwana waabwe Kasirye Joseph yabuze ekiro.
Wagona: Sebwana bwe yamala okukubuulira ebyo wakola ki?
Matovu: Nnakubira Mulo-ndo essimu nti abantu mbafunye nabo ne bajja.
Wagona: B’ani abajja?
Matovu: Mulondo n’abantu abalala ab’oku kyalo be sijjukira bulungi.
Wagona: Kiki kye wakola?
Matovu: Awo we bampe-era n’amawulire nti waliwo n’entaana gye baali baziik-udde. Ne tugenda mu maka ga Kateregga nga tuli ne Sebwana, Mulondo, Najjuka, Kateregga, Nabukeera n’abatuuze abalala.
Wagona: Bwe mwatuuka awaka ki kye mwakola?
Matovu: Tweyongera oku-buuza Kateregga ne mukazi we ekyatuuse ku mwana ne beegaana.
 ENTAANA EWA KATEREGGA
Wagona: Ki kye mwakola?
Matovu: Bwe twalabawo entaana enziikule ne tutya ne tusalawo okubatwala ku Poliisi e Kako.
Mulamuzi: Entaana yali wa?
Matovu: Wa Kateregga nga yasimuddwa.
Mulamuzi: Ennyumba ya Kateregga mwagyaza?
Matovu: Ye ssebo.
Wagona: Kiki kye mwazuula mu nju?
Matovu: Mwalimu endeku, ensaasi, n’eddagala egganda nga biri ku kaliba mu ddiiro.
Wagona: Abantu bameka be wali nabo?
Matovu: Nga 20.
Wagona: Baava wa ?
Matovu: Mu kitundu kyaffe.
Mulamuzi: Ogambye nti mwayingira mu nju?
Matovu;Â Ebyo bye nnalaba.
Mulamuzi: Walaba ku musaayi?
Matovu: Ssaagulaba.
Mulamuzi: Bwali buvunaanyizibwa bwo okubatwala ku Poliisi?
Matovu: Twasalawo okubatwala ku Poliisi e Kako naye oluvannyuma twabatwala e Masaka nga Nabukeera atugambye nti bba Kateregga ye yali asse omwana.
Wagona: Toyogera bitakubuuziddwa.
Mulamuzi: Wano tulina enkola, tomala googere bitakubuuziddwa mu ngeri eya katogo, ebyo bikola wammwe e Kayugi, wano tuva nsonga emu kw’emu nga bagikubuuza.
Matovu: Ye ssebo.
Wagona: E Masaka wagenda w’ani?
Matovu: Mu ofiisi ya OC CID.
Wagona: Ate Kateregga ne mukyala we?
Matovu: Nnali nabo twagenda nabo mu ofiisi ya CID.
Mulamuzi: Walaba ku mulambo gw’omwana n’amaaso go?
Matovu: Twagenda ne Poliisi gye yali asudde omula-
mbo ne ngulabako
n’amaaso gange.
Mulamuzi: Oli omu ku
ba Poliisi?
Matovu: Nze nnali mmannyi ekitundu.
Mulamuzi: Leka kwetwala nti omanyi bingi, Poliisi ye yakusaba okugitwala yo?
Matovu: Bansaba okubatwala kubanga Kateregga yayogerera mu maaso ga Poliisi nga nange wendi.
Mulamuzi: Bantu bameka abaali mu ofiisi ya CID?
Matovu: Mwalimu Kateregga ne mukazi, nze, OC w’e Kako, OC CID ow’e Masaka n’abase-rikale abalala nga bataano.
Mulamuzi: Kateregga n’ayogera ki?
Matovu: Yatugamba ekifo we baali basudde omulambo gw’omwana, OC n’ambuuza oba ekifo nkimanyi?
Wagona:Â Ekifo ki?
Matovu: Ekifo kiri ku kisaalu ku nnyanja y’e Kayugi
Wagona: Kiki ekyakolebwa?
Matovu: OC CID yafuna abaserikale ne tugenda yo.
Wagona: Ani yakulembera Poliisi?
Matovu: Nze nnali mmanyi ekifo ne mbakulembera.
Wagona: Ate Kateregga?
Matovu: Twamulekayo ku Poliisi.
Wagona: Mwagenda mu kifo ki?
Matovu: E Kayugi ku kisaalu.
Wagona: Omulimu gwo gwali ki?
Matovu: Nnabatuusa ku lusaalu, twatambula mpolampola kubanga obudde bwali bwa kiro nga tweyambisa ttooki ate ng’ekifo kirimu amazzi.
Wagona: Zaali ssaawa mmeka?
Matovu: Nga 2:00 ez’ekiro.
Taata w’omwana ye yasooka okulaba omulambo
Wagona: Kiki ekyava mu muyiggo?
Matovu: Twasooka kubula era kyatutwalira obudde nga tunoonya.
Mulamuzi: Mwali mutambulira mu mazzi?
Matovu: Ye ssebo, naye tuba tunaatera okulemererwa okulaba omulambo. Nze ne kitaawe w’omwana tweyongera mu maaso nga banvaako emabega, omulambo ne tuguzuula.
Mulamuzi: Ani yalaba?
Matovu: Taata w’omwana yennyini ye yalaba n’atugamba nti, ‘bannanange omwana wange wuuno yafudde dda’.
Mulamuzi: Gwe walaba ki?
Matovu: Omulambo nga bagutadde mu kakutiya.
Wagona: Kakutiya kika ki?
Matovu: Buno obweru bwe bassaamu obuwunga.
Mulamuzi: Gwali mu kakuyita, wategeera otya nti mulambo?
Matovu: Amagulu gaali gasigadde bweru.
Wagona: Kiki ekyakolebwa?
Matovu: Omulambo gwasitulwayo ne gutwalibwa ku lukalu nga tuyambibwako Poliisi n’abatuuze. Poliisi yagusumulula nga teguliiko mutwe, kkundi n’ebitundu eby’ekyama. Oluvannyuma Poliisi yaguzinga n’eguleeta e Masaka.
Mulamuzi: Wadda ne Poliisi e Masaka
Matovu: Nedda ssebo
Mulamuzi: Mulimu ki omulala gwe wakola?
Matovu: Twaddayo ku kyalo ne tulinda kuziika.
Â
Ebirala birinde enkya.
Ssentebe attottodde