TOP

Nabukeera awa obujulizi

Added 16th September 2009

Steven Wagona (Omuwaabi w’emisango gya Gavumenti): Ow’ekitiibwa omujulizi omulala waali.
Mariam Nabukeera (muk’omu samize Umar Kateregga akwata Kulaani okulayira) : Nze Mariam Nabukeera nkakasa nti obujulizi bwe ng’enda okuwa bujja kuba bwa mazima awatali kulimba.


Wagona

Steven Wagona (Omuwaabi w’emisango gya Gavumenti): Ow’ekitiibwa omujulizi omulala waali.
Mariam Nabukeera (muk’omu samize Umar Kateregga akwata Kulaani okulayira) : Nze Mariam Nabukeera nkakasa nti obujulizi bwe ng’enda okuwa bujja kuba bwa mazima awatali kulimba.


Wagona: Amannyago mu bujjuvu?
Nabukeera: Nabukeera Mariam
Wagona: Olina emyaka emeka?
Nabukeera: 23.

Wagona: Wali osula wa ng’omusango tegunnabaawo?
Nabukeera: Kawempe.
Wagona: Umar Kateregga omumanyi?
Nabukeera: Ye ssebo.
Wagona :Wasooka ddi okumumanya?
Nabukeera: Mumanyi ng’omwami wange.
Mulamuzi: Wamufumbirwa ddi?
Nabukeera: Mwezi gwa munaana 2008.
Wagona: Wa gye mwasisinkana?
Nabukeera: Kawempe.

Wagona: Ekyo kyaliwo ddi?
Nabukeera: August 2008
Wagona: Bwe mwamala okusisi-nkana waliwo gye mwagenda?
Nabukeera: Ye ssebo, e Kayugi.
Wagona: Disitulikiti ki?
Nabukeera: Sigimanyi.
Wagona: Wali obeera wa wakati wa August ne October 2008.
Nabukeera: Kayugi

Wagona: Ng’obeera n’ani?
Nabukeera: Kateregga Umar.
Wagona: Kateregga Umar yali akola mulimu ki?
Nabukeera: Yali musawo muganda.
Mulamuzi: Mwali mu bufumbo obutongole?
Nabukeera: Nedda ssebo.
Wagona: Wali omanyi Kasirye Joseph?
Nabukeera: Ye ssebo

Wagona : Wamumanyi otya
Nabukeera: Yali muzzukulu wa muliraanwa waffe Matia Mulondo.
Wagona : Wateranga kumulaba wa?
Nabukeera: Yajjanga ewaffe.
Wagona: Ojjukira emyaka gye?
Nabukeera: Myaka 12.

Wagona: Omuwawaabirwa omumanyi?
Nabukeera: Ye ssebo
Wagona: Y’ani?
Nabukeera: Godfrey Kato Kajubi.
Wagona: Wali omulabyeko ng’oggyeeko olwaleero?
Nabukeera: Ye ssebo
Wagona: Ojjukira lwe wasooka okumulaba?
Nabukeera: Ye ssebo, Nnamulaba nga 27, October 2008 ewaffe awaka
Wagona: Ojjukira ebyaliwo kw’olwo?

Ebirala birinde enkya.

Nabukeera awa obujulizi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...