TOP

Mukazi wange mujoozi wa bbaluwa!

Added 31st August 2009

Saabitwala nga kikulu ne ndowooza z’eng’ambo ezibeera mu mukwano.

Mu bbanga ttono mukazi wange yazaala omwana n’afaananira ddala omuvubuka gwe bang’ambako nti amwagala. Nnasirika nga njagala nkuume ekitiibwa kyange n’ekyamaka gange. Twasenguka ne tudda ku kyalo ekirala era ne n

Saabitwala nga kikulu ne ndowooza z’eng’ambo ezibeera mu mukwano.

Mu bbanga ttono mukazi wange yazaala omwana n’afaananira ddala omuvubuka gwe bang’ambako nti amwagala. Nnasirika nga njagala nkuume ekitiibwa kyange n’ekyamaka gange. Twasenguka ne tudda ku kyalo ekirala era ne nfuna olugambo lwe lumu. Era nnasirika kuba simukwatangako.

Yaddamu okuzaala omwana owookubiri ate ye n’ayitirira okufaanana omuvubuka oli. Bwe nagamba ku mukazi wange n’ambuuza nti, 'abasajja abo bagenda okunzaalamu abaana nga ggwe oli ludda wa? Era n’angamba nti muviire ku baana kubanga asobola okubalabirira era teyeetaaga buyambi bwange bwonna ku baana abo. Ate bwe mugoba mu maka gange agamba nti talina gy’alaga. Ssenga nkoze ntya?
FS Kamwenge.

FS- Bw’olabanga omukyala ng’akuddamu ebigambo ebisongovu ng’ebyo nga takutidde namu, ng’omanya nti alina ekimuwaga. Abakyala abamu zibeera ssente, abalala abeera n’omusajja omulala.

Mu kulaba kwange omukyala ono alimu obwenzi. Kyandibadde kirungi otwale abaana abo, babakebere omusaayi kubanga oyinza okulowooza nti babo nga si babo.

Ogambye nti oyagala kukuuma kitiibwa kya maka go, naye jjukira nti mw’asinziira okugenda mu basajja be. Omwo mukyalimu kitiibwa ki? Kale nze ndowooza nti kebeza omusaayi era omwesonyiwe.

Omowala muddire?

SSENGA- Ndi wa myaka 23 era eby’abakazi sibigenderako olw’okutya siriimu. Naye nalabye omuwala omulungi okuzaama. Namusonsese akagambo n’akkiriza ne twekebeza nga tuli balamu.

Twatandikiddewo okunyumya akaboozi era omwana ono musuffu mu buliri n’abalongo alina abawera. Wabula twabadde mu kaboozi nga katuuse ku ntikko n’ayogera erinnya ly’omulenzi omulala!

Naweddemu amaanyi era awo we nnakomye. Bwe nanoonyerezza, ne nzuula nti ku muliraano gwabwe waliwo omuntu ayitibwa erinnya eryo. Ssenga omuwala muddire, kubanga anneesibyeko?

MUNNANGE, ono John muganzi we. Abawala n’abalenzi abalina omuze ogw’obwenzi mwegendereze ebigambo bye mukozesa mu mukwano. Abantu abasinga mu kwegatta batera okulowooza baganzi baabwe abalala basobole okufuna obwagazi.

Mu birowoozo bye bwe mubeeramu John kiba kyangu okukuyita John. Abalala bayinza okuba nga yayagalako ku John n’amuleka kyokka nga yali amwagala nnyo.

Bw’aba agenda okwegatta n’omuntu omulala, okusobola okufuna obwagazi alina kulowooza ku John. Kale omuwala ayinza okuba ng’amwagala oba nga yamwagalako. Bw’aba akyamwagala ggwe wandimulese.

Mukoddomi wange ansobedde
SSENGA- Mukoddomi wange atuuse okwonoona obufumbo bwaffe.  Yanneewolako ssente nga nnyingi ddala. Ekiseera ky’okusasula bwe kyatuuka n’atandika okuleeta obusongasonga. Nalaba ayitiridde okumbuzaabuza ne muloopa mu bakulu kubanga n’endagaano kwe namuwolera nagirina.

Kino tekyannyamba kwe kumutwala mu mbuga.  Kati abantu be ne mukyala wange bannenya mbu nnyinza ntya okukola ntyo? Ssenga nkoze ntya, nange ssente zange nzaagala kubanga enfuna yange si nzito nnyo.

MWANA wange -Ssente tebagiyingizaamu luganda oba mukwano. Awo oba onoonya kwawukana n’abantu abo kubanga ne bwe muba n’endagaano era gwe wawola agaana okusasula. Anti agamba nti ndaba “mukoddomi wange anaankola ki?” Okutwala ensonga nga zino mu bakulu tekiyamba kuba baba balina okuwonya mutabani waabwe.

Enfuna yo si ya maanyi nnyo nga bw’ogambye naye olina okwawulako ku ssente n’obufumbo bwo osalewo. Wandifu-bye ne weesonyiwa ssente zino. Kino kizibu naye kigenda kukuwa emirembe. Singa bamusiba manya nti omusango bagenda kuguteeka ku ggwe.

“ssente zokka, nga muzibu,” kyokka nga nabo ssente singa zibadde zaabwe bandikikoze. 

Naye kati onoonya mirembe, ssente osobola okukola endala.  Kino kyakuyiga gy’oli n’abasomi abalala, “ssente” “n’omukazi” bigambo bizibu zeesonyiwe okole endala.

Agaanyi okwekebeza

SSENGA- Omuwala gwe njagala nawulira nti omwami we yafa siriimu. Muwala mulungi, wa mpisa era mwagalidde  emyaka kati ebiri. Njagala muwase naye bwe namugambye twekebeze omusaayi n’agamba nti tasobola kulinnyayo.

Tubadde tukozesa kondomu ate saagala mufiirwe. Eby’okwekebeza mbiveeko?

Mwana wange si kya magezi kuwaayo bulamu bwo bw’otyo. Oba oli mulamu era ng’obadde n’obuvunaanyizibwa okukozesa kondomu lwaki oyagala okwevaamu? 

Osobola okufuna omuwala omulala omulungi era ow’empisa naye tosobola kufuna bulamu bulala. Oba tasobola kwekebeza muleke.

Tayagala kwegatta

SSENGA - Omwagalwa wange asoma nange nsoma. Tumaze emyaka ena nga twagalana naye twasooka butakwatagana bulungi nga tuyombayomba naye kati twatereera.

Ekizibu kye nnina kya buteegattako naye. Buli lwe mugamba ang’amba nnindeko. Naye ddala anjagala?

Ogambye mwembi musoma. Nze kye mmanyi ku bawala abasoma, batya nnyo okwegatta kubanga tebaagala kufuna mbuto. Abavubuka bangi naddala abasoma abali mu mukwano nga tebeegatta. Nze ndowooza nti omukwano teguli mu kwegatta kwokka wabula n’ebikolwa ebirala.

Ggwe mu kulaba okukwo munno yeeyisa atya? Akwagala? Abantu bangi abeegatta naye nga tebalina mukwano. Oba munno awulira tannatuusa kwegatta kireke, tomupapya.

Ka ayisikuliimu kazza laavu

Mukwano kankuliise ku ka ayisikuliimu kano okukase nti nkumatira. Bw’atyo Linda Nayiga bw’alabika okugamba omwagalwa we Paddy Senkubuge mu maka gaabwe e Nabweru nga bali mu biseera byabwe eby'eddembe.

Mukazi wange mujoozi wa bbaluwa!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...