Kyategeezeddwa nti abatemu bano basoose kutuga mwana ono bw’agaanyi okufa kwe kumusala emisale ku mugongo ng’atunula awo we bamulese ng’ataawa ne babulawo.
 Racheal Kemigisa asomera mu nnasale mu ssomero lya Byamukama P/S kyokka ng’abeera Maddu mu Gomba ku kyalo Kyayi kati apoocera mu ddwaaliro e Mulago gye yatwaliddwa oluvannyuma lw’okusangibwa mu kibira ng’ataawa ku Lwomukaaga.
Omulaalo eyabadde alunda ente ye yazudde omwana ono oluvannyuma lw’okuwulira ekibolooga era bwe yetegerezza kwe kumulaba n’atemya ku batuuze.
Jjaaja w’omwana ono, Angelina Akiiki yategeezezza nti yakoma okulaba muzzukulu we ng’amutumye ku luzzi n’amunoonya n’abula ensonga kwe kuzitwala ku poliisi eyaggulawo omusango ku fayiro
SD:.06/19/08/09.Â
   Poliisi y’e Maddu yagambye nti ebuuliriza.
Omwana babadde bamusadaaka