Mu ngeri y’emu ababaka ba Palamenti okuli: Florence Nayiga (Kayu-nga), Margaret Babadri (balema) ne Florence Ibi Ekwau (Kaberamaido) basabye okwekebeza siriimu kubeere kwa buwaze Bannayuganda bonna bamanye bwe bayimiridde ku by’obulamu.
Bino byabadde mu musomo gw’okukubaganya ebirowoozo ku kulwanyisa obulwadde bwa siriimu obwongedde okusasaana ennaku zino naddala mu bafumbo.
Â
Omusomo ogwabadde ku Palamenti eggulo.  Akulira ekitongole ekirwanyisa siriimu ekya ‘Uganda Aids Commission’, Dr. Kihumulo Apuuli yagambye nti waliwo ekika kya kondomu z’ekikazi ekipya ekikoleddwa mu Amerika ekiyinza okutaasa abakazi ba Uganda abaazira ekibaddewo. Ekika kino tekinnatuuka mu Uganda.
Â
Yalaze okutya nti obwenzi bufuuse obwenzi naddala mu bafumbo nga n’abantu eby’okukozesa kondomu babivuddeko.
Â
 Agamba nti kyazuuliddwa nti abantu 130,000 mu Uganda be bafuna siriimu buli mwaka nga ku bano, abafumbo bali ebitundu 42 buli 100.
 bafumbo.
Abakugu bakoze ekika kya kondomu z’abakazi ekipya