“Tukola ku mitendera egiyitamu liizi zammwe tuzibawe era mu bbanga ttono tugenda kubayita mube bagumu,†Kijjambu bwe yagambye.
Yabyogeredde mu lukiiko olwabadde ku Workers House bwe yayitiddwa minisita Adolf Mwesige n’abakulembeze b’abasuubuzi mu lukiiko bagonjoole obutali bwenkanya obubaddewo ku bigambo ebyayogerwa KCC. Adolf Mwesige yasoose kuteesa n’aba KCC okwabadde Ruth Kijjambu, omumyuka wa meeya Florence Namayanja n’omumyuka wa Town Clerk atwala Ggombolola ya Kampala Central ne basalawo nti liizi zigabibwe.
Ruth Kijjambu yagambye nti aba St. Balikuddembe ebyabwe biri wa babalirizi okumanya ssente ze bateekwa okusasula.
“Minisita ne Ssaabawo-lereza wa Gavumenti baakakasa ekibiina ekigatta abasuubuzi ekikulemberwa Kayongo Nkajja era kye tumanyi nti kye kituufu nga kye tugenda okuwa liizi,†Kijjambu bwe yagambye.
Ku by’akatale ka Kisekka yagambye nti ensonga zaabwe zikyali wa Ssaabawolereza wa Gavumenti.
“Lipoota ya Ssaabawolereza wa Gavumenti gye tugenda okwesigamako okubawa liizi era mu bbanga ttono egenda kuba ezze tubakwase liizi nga Pulezidenti bwe yalagira,†Kijjambu bwe yagambye.
 Olukiiko luno luddiridde ebigambo bya KCC bwe yategeezza nti amatteeka agafuga obutale ekiseera kino tegabakiriza kuwa basuubuzi liizi okuggyako nga gamaze kukyusibwa Palamenti.
Kijjambu agumizza aba Owino ku liizi