TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Okuzza Dr. Kiggundu ku kakiiko k’ebyokulonda kibayombezza

Okuzza Dr. Kiggundu ku kakiiko k’ebyokulonda kibayombezza

Added 16th August 2009

Brig Kasirye Ggwanga: Pulezidenti Museveni ky’abagamba kikiino. lwa kuba mwe temukitegeera, toyinza kung’amba nti omuntu ava e Kabale avuganye e Kibaale.

Okugula ettaka ebunaayira kirala n’okulya obukulembeze kirala. Bw’oba oyogala kukola ssente zo tewali kizibu naye tosuubira kufun

Brig Kasirye Ggwanga: Pulezidenti Museveni ky’abagamba kikiino. lwa kuba mwe temukitegeera, toyinza kung’amba nti omuntu ava e Kabale avuganye e Kibaale.

Okugula ettaka ebunaayira kirala n’okulya obukulembeze kirala. Bw’oba oyogala kukola ssente zo tewali kizibu naye tosuubira kufuna kifo kya bukulembeze.

Mbadde e Mubende, mmanyi lwaki byenkugamba bituufu ate tolowooza nti mpagira okusosola mu mawanga. Kyekyo lwaki n’olumu abazze okusenga ng’Abakiga tebatera kuzimba nnyumba za buwangaazi, bazimba za lusaago olwo ewaabwe ne bazimba ez’obuwangaazi. Nze ku lwange, pulezidenti kye yakoze  e Bunyoro nkisemba emirundi gyonna. Kyesiwagira kwe kutwala ettaka lyabwe kubanga baagula ggule.

 Eby’engeri eyo bye byayongera n’amaanyi mu by’ettaka lya Amama Mbabazi lye yaguza NSSF. Kwekugamba Abaganda oba abantu balaba Omukiga Mbabazi akola ssente mu ttaka lya Buganda ,ekyo tukireke.

Kati Nkugamba nti n’akakiiko k’ebyokulonda tekalina mutawaana, ekibakayaana bwavu.

Tuve mu byobufuzi tudde mu bya nkulakulana ebyobukiiko bw’okulonda mu byagazaaki? Mubeera nga nze mulime n’okukola ennyo mufune ssente eby’akakiiko bireme bamalira budde.

Kola ogule ttulakita nga nze ovuge olime ofune. ( adda ku babadde beerumaluma - Ggwe Nakajiri sirika naawe gundi.. eh Musoga! Abasoga mpulira bagamba nti ewammwe envunza zisusse!

Kaakati nkugamba nti nze ndi ku nkukulaakulana, ffe twagala mutaka  ssente.

Omusumba Christopher Kyobe: Ku kakiiko okwongezebwayo ekisanja, sirowooza nti pulezidenti yakoze nsobi kubanga ssemateeka amuwa obuyinza okugoba, okulonda n’okwongezaayo ekisanja. Ekirala, nze ndaba Dr. Kiggundu n’akakiiko ke abadde afubye okukola era asaana okwongezaayo.

Nze kitange yang’amba nti toyinza kusanyusa buli omu. Era bw’olaba embwa ey’amaggulu ana ng’eyimiriza okugulu kumu, manya nti waliwo ensobi.

Mpozi n’ekirala Kiggundu musajja mukalabakalaba era  Museveni yalaba nti yajja okusobola ebintu, omanyi Uganda kati yafuuse y’abayaaye bw’obeera poole togisobola.

Ku by’Abafuruki, Museveni mutuufu kubanga sirowooza nti omuntu ayinza okuva e Bunaayira n’afuga.

Mutalebani Kigongo: Ku bya Dr. Kiggundu, nze mbadde mu byobufuzi ebibaddewo, abasinga ne banenya Kiggundu kyokka ng’abo bennyini bwe tubeera mu kalulu beesiba mu Kampala mu byalo ne batalinnyayo! Bwe babasinga nga badda mu batubbye so nga beebalemeddwa okunoonyayo akalulu. Mu byalo awali abantu ne batagendayo ne beesiba mu Kampala mwokka.

Dr. Kiggundu okutwaliza awamu akoze nnyo tulina kumulung’amya si kumugoba kubanga omukazi afumba eyakakoolakoola tomugoba omulagira kuboobeeza. Omusango si gwa Dr. Kiggundu gwa ba ludda luvuganya abanafu.

Ensonga y’Abafuruki, tukimanyi nti eggwanga lyaffe liyaniriza buli muntu naye ate tukimanye nti tewali asinga muntu wa mu kitundu kumanya bizibu byakyo n’olwekyo ku Bafuruki mutuufu tebayinza kusinga Banyoro kumanya by’e Bunyoro era sirowooza nti ogwo musango okuwa endowooza ye.

Kaziba Musuubuzi: Ku bya Dr. Badru Kiggundu, nze ndaba akuze asaana kukyusa gwe ate abasoma abalala banaakolawa? Sigamba nti abadde abba akalulu, nedda, kyendiko nti anaaweereza okutuuka ddi?

Bwe ngenda ku basenze b’e Bunyoro, nsoberwa kubanga ne Hajati Hanifa Kawooya yandibadde teyeesimba Ssembabule! Bw’oleka Kawooya ate lwaki ogaana Abafuruki?

Byarugaba: Nze munsobedde, kati Dr. Kiggundu n’akakiiko ke temwandibafuddeko kubanga tewali kigenda kukyuka. Kiringa okuwakanya ddifiri gwe bawadde okulamula omupiira. Ebyo bye mugamba nti buli kibiina kikiikirirwe tebijja kukola, ebibiina bingi olwo banaabeerako bameka?

Ate n’anaawangula tasinziira ku kakiiko, wano mu kulonda okuwedde waliwo ebifo aba Besigye gye bataalina buwagizi wadde abatunulizi olw’obunafu bwe ate ne beekwasa akakiiko.

Ku Bafuruki, kambuuze ani ku mmwe atali Mufuruki? Temunamanya nti e Bunyoro waliwo obuzibu obwetaaga okusalira amagezi! Oba Museveni aleese amagezi agage, gwe alekaana agago galuwa?

Lutwama Afrika:Nabadde nsubira nti ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ateekwa kuba Musiraamu, owa NRM ate nga wampisa. Nabadde sisuubidde kumusanga nga ye Dr. Badru Kiggundu kubanga simwesigwa. Ayinza n’okukola ebyali e Kenya. Ku kye Bunyoro, kinnuma nnyo okulaba nti ssentebe wange Museveni mu NRM musosoze kubanga lwaki agaana Abakiga e Bunyoro nga wano Abalaalo bali ku ttaka lya Buganda babba awatali kugambwako?  

 Dan Mugume: Ku kakiiko k’ebyokulonda ndowooza nti tekalina mutawaana abalina obuzibu ba bibiina ebiremeddwa okufuna obuwanguzi olw’obunafu. Kati DP ,UPC ne JEEMA by’olowooza nti biyinza okuwangula? Kiringa mukazi mugumba kwekwasa mufaliso nti gwe gumulemesezza  okufuna olubuto. Ekibiina ekimala emyaka 45 nga tekifuze nga DP nze nkiyita ka kkampuni.
Lukundo Afrika: Akakiiko k’ebyokulonda tekatandise leero kyokka babadde bakagondera ne bavuganya. Bakalaba ssaawa eno? Lwaki bagamba nti Kiggundu aleeta obuzibu?

Ku Bafuruki, nneewuunya nti amawanga ag’akyalina obusosoze g’egakyali emabega. Abososola bali mabega tebamanyi nkulaakulana era ndowooza Museveni abantu abasomese okusinga okubawa amagezi agatayinza kukola bw’ogendera ku konsitityusoni.

Willy Ssenkuba: Seewuunyizza bantu abo kuzzibwa kakiiko naawe nga bw’otegedde.  Kyendowooza, ebibiina byonna ebivuganya mu ggwanga byandibadde byebuuzibwako ne bakola olukiiko olwawamu. Ekirala n’ebitongole ebikuumaddembe byandibadde bikugirwa okwetaba mu by’okulonda.

Ku by’Abanyoro, Museveni mutuufu  kubanga abantu bonna basosola yadde Abaganda abeeyisaako. Mpozzi mwe abatatambudde, naye ffe abalabyeko, tewali atasosola  ky’ova olaba nga nze nagaana n’okuwasa bannamawanga. Omukazi owange namuggya Masaka tonziza mw’ebyo.

Stella Tumuhairwe: Ekisooka akakiiko k’ebyokulonda si ke kabba akalulu wabula abeesimbyewo. Kasita kandideeti akuwa ssukaali n’omunywa oba obbye kalulu gattako abeemiruka n’abalala abayitwako ebivudde mu kulonda nga tebinnatuuka wa ssentebe Kiggundu alangirira oluvannyuma.

Ku Bafuruki, Museveni bye yayogedde tewali muntu wano atali Mufuruki! N’olwekyo eby’okugaana Abakiga baayo okuvuganya kuba kubaggyako ddembe lyabwe ery’obwebange.

Museveni n’Omukama wa Bunyoro batuuze Abanyoro babayigirize okuzaala n’okulima bagaggawale mu kifo ky’okukugira Abakiga baayo okuvuganya.
Ssegirinya ow’e Kyebando:

useveni akakiiko akafudde ka baaluganda bako n’abeemikwano. Kiggundu ndaba omulimu gumulemye kubanga ne bw’aba alangirira awoza kimu nti ‘ebintu mbirangirira nga bwe babimpadde.’ Oyo aba mukulu wa kakiiko ateesalirawo? Akakiiko akatuufu kandibadde kabeerako abakiise b’ebibiina byonna. Ku Bafuruki, eyo Museveni gy’alaze alinga awaba, kuba kusosola  era ndowooza naffe abakyala be tulina abalaalo tubagobe?.

Kahenda Provia:  Ono omwana abadde alowooza nti Kiggundu okulangirira ebintu nga bw’abifuna mukyamu, gwe mukyamu kuba bwe kiteekeddwa okuba. Kati ku kakiiko sirowooza nti yagamba ebibiina okuba ebinafu bituuke n’okubulwa ba kandideeti.
Kiggundu talina nsobi yonna era ndowooza ku luno amagye gateekeddwa okuba mu kulonda kubanga abantu batandise okutaamuuka.

Ku Bafuruki, ndaba nga Museveni awabisa. Bw’onova mu byokwesimbawo ojja kusanga nga nalina omukazi awaka oba omusajja omukiga agenda kumuboola, oba omusawo agaane okuba omulala empiso olw’okuba Omunyoro !

Kyendaba, Abakiga tuveeyo ku Museveni tumuzirire okulonda kwonna gwe ate obeera otya n’omukulembeze gw’otalonda?
Baguma Yowasi: Ebyo Kahenda byayogerako bya kubuguumiriza kubanga Omunyoro akwata mpola. Ku kakiiko,  Dr. Kiggundu yayise mu kakungunta n’olwekyo tumuleke.

Ab’oludda oluvuganya abagamba nti Dr. Kiggundu waakubabba ndowooza ekirungi tutegedde mangu, munyweza wansi eyo oba akakiiko kagula kamera zireetebwe wabulewo ababba.

Nantameggwa Ssenyonga: Dr. Kiggundu yinginiya ate eno ali mu byakulonda, mbuuza, bwe bakuwa ani gw’otunulira akuwadde oba atakuwadde?

Nakajjiri: Akakiiko k’ebyokulonda ndowooza kandikoze bulungi era sijja ku kirwako.Ku Bafuruki, ndowooza nti Museveni yayogedde lwa bulungi si kutumbula mpalana.

Era ndowooza yayagadde kuwabula kubanga n’ebiri e Bunyoro n’eno by’atuuka dda n’osanga ng’Abafuruki b’e Kamwokya bwe batuuka ku ssentebe baaleeta  Godfrey Nyakana ate ab’e Nakawa Ruhindi.

Namwanje: Ebigambo bya Bunyoro, Bungangaizi, Kibaale sirina kye simanyi kubanga nva mu famire y’omugenzi George Magezi. E Kibaale, Ssekitoleko yaleeta ekizibu bwe yasombanga Abakiga mu bbaasi ng’abayiwa e Kibaale okufananako nga Ntambala [atali eyagobanga abantu ku ttaka] engeri gy’aleetamu abantu e Kiboga. Wano obuzibu we bwava kubanga Abakiga babadde bayitiridde okuteeka Abanyoro ku bunkeenke. Era e Kibaale obuzibu bukyagenda mu maaso ndowooza ne Museveni kye kyamuwadde okumala gasalawo balekere Abanyoro kubanga kibadde kibi era mukwano gwange Museveni nnywera ebintu biyinza obutabeera byangu.

Dan Kirya: Ensonga etubonyabonya ey’Abafuruki n’ebbaluwa nagifuna ne nneewunya kubanga waliwo abagamba nti naye Mufuruki! Lwaki ye yeesimbawo? Kuva 1986 ng’agamba nti okusosola mu mawanga kikyamu era n’abamu ne bagamba nti ayagala kukusa Banyarwanda abazaalibwa kuno era ndowooza olaba balina enkizo. N’olwekyo aba mukyamu ate okukyuka  n’adda mu kwawulayawula mu bantu.

Haji Kamya: Nsooka na kya Bunyoro n’ebbaluwa ya Pulezidenti.  Pulezidenti alaba wala ate asooka kwebuuza n’olwekyo tayinza kuba nga yamala gasalawo, ebintu tusooke tubigendeko mpola. Ate buli kitundu kiba n’ebyakyo gwe mu Buganda oyinza okuba oyagala Federo ng’ate Abanyoro baagala kubeera na bakulembeze Banyoro.

Ku by’okulonda ba ddifiri, bakola kitono, abalonzi be basinga n’olwekyo Dr. Kiggundu tayinza kubbira atafunyeeyo kalulu. Mwawule. Wano oba bakubba, bukukumbe bwonna tulabe bwe banaagamba nti gwe afunye 80 ku 100 gwe bawangudde.
Katenda Luutu [RDC]: Eby’okulonda temuli kwekubiira mu kakiiko kubanga n’aba NRM waliwo lwe tuwangulwa yadde mwekwasa nti akakiiko k’ekuubira ku ffe.

Ku by’e Bunyoro sirowooza nti Museveni mukyamu.Okuwabula yali alung’amya ne bannasangwa Abanyoro baleme kulekebwa bbali. Abakiga bazzadde okukamala e Bunyoro baagala kwefugayo. Bwe babagambako olwo kwe kukola obubi!  Ate ne gwemuwakanya alina [vizoni] tomala gamuwakanya. Ky’ayagala ye buli muntu okweyagalira ewuwe.

Tomusange Albert Basajjasubi: Ku mwe abali wano waliwo eyavaayo mu 1980 okwogera ku byaliwo ku kakiiko k’ebyokulonda? Ffe okugenda tetwagulwa wabula yali mbeera. Naye nga gavumenti eno twandibadde tujagala nnyo kubanga egambwako ate ewuliriz. Akakiiko ke mwogerako kakola okusinziira kuffe abalabyeko.

Robert Mulindwa: Mu byokulonda, ensonga si kakiiko  oba Dr. Kiggundu wabula kulemwa kutegeera okulonda kye ki n’amateeka agagenderako. Okulonda mu Uganda kitegeeza mazina amaseveni ng’abavuganya Museveni  omuzinyi omukulu be bawerekeze ng’akakiiko k’ebyokulonda be bagoma.

Ku ky’e Bunyoro, nze okusosola nkwagala oba olyawo ne Federo kwenaatandikira.

Mathias Ntambala: Akakiiko k’ebyokulonda,  Dr. Kiggundu bamuleke yabasinze ensumika kubanga ne palamenti yamuyisizza. Ku Bafuruki, mpagira Museveni kubanga tetuyinza kukkiriza ba Sserwajjokwota okukiza nnannyinimu entanama.

Janat Mahaba: Ku Banyoro n’Abafuruki, kikyamu Museveni okwawulayawula mu bantu. Ate ku kakiiko k’ebyokulonda, sirowooza nti Dr. Kiggundu tabadde mwesimbu. Musajja mukozi era abagamba nti abanyaga sooka weebuuze nti babeera n’obuwagizi? Tuleme kwogera kutuusa luwalo.

Wilson Bogere: Mu kampeyini eziwedde, nasanga Obedi Bwanika ng’obululu abusaba ba poliisi, e Gulu ng’aba DP tebalinayo kifanaanyi kya kandideeti waabwe wano n’enfuna ekifanaanyi nti abantu abamu tebanayiga kalulu ate bwe kabalema ne beekwasa batubbye. Milly Nassolo: Ku kakiiko k’ebyokulonda,  Museveni mukyamu kuba kakoowu.

Zaidi Kyabaggu:Mu mateeka Dr. Badru Kiggundu talina buzibu kubanga ebisaanyizo byonna ebisabibwa mu konsitityusoni abirina ate ky’akola akimanyi.

Saidi Muwe: Okulonda kituufu kubaddemu okubbira naye kutonotono era bw’omanya ekyo tobeerako ate bw’owolereza kakiiko, obubbi buba bubbi.

Ku Bafuruki, siraba nsonga egaana musenze kuvuganyiza gy’ayagadde kasita aba n’obusobozi era Museveni okutandika okudda mu mboozi ezaawulayawula, kiraga nti akooye tumukyuse.


Ttabamiruka atuula buli Lwamukaaga okuva essaawa ttaano okutuuka munaana. Naawe oyanirizibwa.

Okuzza Dr. Kiggundu ku kakiiko k’ebyokulonda kibayombezza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...