TOP

Basudde omwana mu loogi

Added 14th August 2009

Bwe bamaze okwemala eggoga   ne balabiriza abakozi ba loogi ne babasuulira omwana bbo ne beemulula.

Omukazi ono bwe yabadde ayingira loogi yawandiisizza amannya mu kitabo ky’abasuze nga  yeeyise Recho ate muganzi we n’awandiisa erya Kayongo, era nga yeeyise bba.

Bino bya

Bwe bamaze okwemala eggoga   ne balabiriza abakozi ba loogi ne babasuulira omwana bbo ne beemulula.

Omukazi ono bwe yabadde ayingira loogi yawandiisizza amannya mu kitabo ky’abasuze nga  yeeyise Recho ate muganzi we n’awandiisa erya Kayongo, era nga yeeyise bba.

Bino byabadde mu loogi ya  Edina Guest House e Kanyanya mu Lutunda Zooni mu kiro ekyakeesezza Olwokusatu.

Omukozi mu loogi eno, Pauline Binomugisha yagambye nti Recho yazze ne Kayongo ne beewandiisa ku ssaawa nga 3.00 ez’ekiro ku Lwokubiri.  Baasasudde 6,000/-  ne babawa   akasenge nnamba 2  mwe baasuze.
 
“Enkeera omukazi yatutegeezezza nga muganziwe (obwedda gw’ayita bba) bwe yabadde agenze okukola n’atusaba asiibe mu loogi, era n’asasula endala 6,000/- naffe ne tukkiriza. Nnayingidde akasengeke okukalongoosa ne tunyumya, kyokka bwe nnavudde mu kaabuyonjo gye nnabadde nnongoosa nnasanze afulumye ng’alese omwana yeebase. Twamunoonyezza ne bannange nga talabika, era omwana olwazuukuze ne tumutwala ku poliisi ne tuggulawo omusango ku fayiro SD 33/13/08/09,” bwe yannyonnyodde.
          
Yagambye nti Recho mukazi Munyankole, era obwedda tatereeza bulungi Luganda.
   
Akola ku nsonga z’amaka n’abaana ku poliisi e Kawempe, Muky. Elizabeth Nakandha yagambye nti banoonyerezza n’asaba abamanyi ku mukazi eyasudde omwana batuukirire poliisi.

Basudde omwana mu loogi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Joel Kakembo akunz...

Omusumba Joel Kakembo owa Mt. Zion Church Gayaza era akulira Upper Room Pastors Network, akubirizza abasumba okwetaba...

Abatuuze mu lukiiko.

Nnamukadde yeekubidde enduu...

Nnamukadde Teddy Nakirijja 75, nnamwandu w'omugenzi Disan Mukasa yeekubidde enduulu mu ofiisi y'omukulembeze w'eggwanga...

Omubaka Kabanda ng'ayogera eri abaddusi.

'Muwagire nnyo enteekateeka...

OMUBAKA omukyala owa Masaka mu Paalamenti, Mary Babirye Kabanda emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka agisimbudde n'abaddusi...

Amuriat (owookusatu ku ddyo) ne banne nga batudde mu luguudo wakati.

Wano nvaawo na guleeda - Am...

Wabaddewo akanyoolagano wakati w'akwatidde FDC  bendera okuvuganya ku bwapulezidenti, Patrick Oboi Amuriat ne Poliisi....

Ssaabasumba ng'akwasa Omukristu Bayibuli. (Ebif. Ponsiano Nsimbi)

Abavubuka mukomye okukola e...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga alabudde abavubuka  okukomya okukola effujjo....