TOP

Makerere University eyongezza fiizi

Added 10th August 2009

  Akakiiko ka yunivasite eno akafuzi akaatudde omwezi oguwedde ke kaasazeewo bino era ng’amasomo agamu  gaayongeddewaako ssente ezisoba mu 350,000 /- buli lusoma.

  Mu masomo agaayongezeddwaako mulimu; eby’amawulire ebivudde  ku 600,000/ ne bidda ku 980,000/-  buli lusoma.
 E

  Akakiiko ka yunivasite eno akafuzi akaatudde omwezi oguwedde ke kaasazeewo bino era ng’amasomo agamu  gaayongeddewaako ssente ezisoba mu 350,000 /- buli lusoma.

  Mu masomo agaayongezeddwaako mulimu; eby’amawulire ebivudde  ku 600,000/ ne bidda ku 980,000/-  buli lusoma.
 Eby’obusuubuzi   (B.com) zivudde ku  800,000/-  ze zituuka ku 1,120,000/-. Embeera z’abantu (Social Sciences) ensimbi ze basasula zongezeddwa okuva ku  450,000/- okutuuka 700,000/- buli lusoma. Abasoma obusomesa balina okusasula 672, 000/- nga zino zivudde ku  450,000/-.

    Abasoma amateeka bagenda kusasulanga 1,260,000/-, zino ziva ku 950,000/- buli lusoma. Ng’oggyeko ezisasulwa nga fiizi  abayizi abeesasulira balina okusasula 368,500/- ezizingiramu ezigenda mu nsawo ekola ku by’okunoonyereza, ez’okwewandiisa, ez’okukozesa etterekero ly’ebitabo, ez’ebyenkulaakulana n’eza tekinologiya. Endala 100,000/- zisasulwa kufunira  bayizi kkampuni gye bagenda okutendekerwa okufuna obukugu mu mirimu gye basoma.

 Balina okusasula 33,000/- ez’okufuna kaadi ya yunivasite, ekyambalo ky’okutikkirirwamu n’akatabo k’amateeka  ga yunivasite.
 Abayizi abatandika balina okusasulirawo ssente zino oba ssi ekyo ekifo kyabwe kya kugabibwa. Bino byonna okusinziira ku nsonda mu kakiiko akafuzi bikoleddwa okulaba nga yunivasite ekung’aanya ssente ezimala okugiyimirizaawo.

 Avunaanyizibwa     ku kuwandiisa abayizi, Olar Odur yakakasizza ng’ensimbi bwe zaalinnyisiddwa n’agamba nti kikoleddwa kuyamba yunivasite kuddukanyizibwa bulungi. Kyokka n’atangaaza nti ssente ezongeddwa zikwata ku bayizi bapya abayingira yunivasite.

 Fiizi ezibadde zisasulwa zaatandika okukola mu  1996 era zibadde tezikyusibwanga. Mu 2007 bajeti ya yunivasite eno yalimu omuwaatwa gwa buwumbi 40 era abaddukanya yunivasite beewola ssente za pensoni w’abasomesa okusobola okugiyimirizaawo. 
 Yunivasite gye buvuddeko yagezaako okwongeza fiizi Gavumenti n’ebiyingiramu n’egigaana.
 Ssente empya ezisasulwa amasomo agatali gamu kuliko:
-Eby’obulimi             1,344,000/-
-Eby’endiisa              1,200,000/-
-Eby’ebibira                   840,000/-
-Obwayinginiya         1,155,000/-
-Obusaveya                   1,155,000/-
-Eby’okukanika
kompyuta                     1,250,000/-
-Eby’embeera
z’abantu (SWSA)          840,000/-
-Katemba, amazina
n’okuyimba                700,000/-
B.com external          500,000/-.
                                

Makerere University eyongezza fiizi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu