TOP

‘Mulindeko okusasula Mmengo’

Added 6th August 2009

Bino bibadde mu kakiiko ka Palamenti ak’ebyokwerinda akakulirwa Matthias Kasamba (Kakuuto) ab’ekitongole ky’abasibe bwe baabadde  basisinkanye ababaka  okuwa embalirira yaabwe ey’omwaka 2009/10.

Ababaka baasoose kukukkuluma ku bungi bw’ensimbi Mmengo z’ebanja Gavumenti neÂ

Bino bibadde mu kakiiko ka Palamenti ak’ebyokwerinda akakulirwa Matthias Kasamba (Kakuuto) ab’ekitongole ky’abasibe bwe baabadde  basisinkanye ababaka  okuwa embalirira yaabwe ey’omwaka 2009/10.

Ababaka baasoose kukukkuluma ku bungi bw’ensimbi Mmengo z’ebanja Gavumenti ne  bagamba nti kirabika basaba ssente nnyingi nnyo okupangisa Gavumenti ettaka lino.

“Jjuuzi nnabadde mpuliriza leediyo ne bagamba nti ensimbi za Gavumenti ya Buganda ezisinga ziva mu kupangisa Gavume-nti ttaka era nga ery’e Kigo ly’erisinga okubawa ssente, Gavumenti esaanye ezuukuke egule eryayo,” omubaka Bambare Bihande (Kasese) bwe yagambye.
Ababaka era baakunyizza ab’ekitongole bannyonyole ekivaako ensimbi ezo okutuuka ku bungi obwo kuba ne Mmengo yasuubiza okukuba Gavumenti mu mbuga lwa butasasula.

Kyokka kamisona w’ekitongole kino, Johnson Byabasaija yategeezezza akakiiko nti ettaka lye baagala okuzzaako ekkomera omugenda okudda abasibe b’e Kigo baamala okulifuna naye tebannafuna ssente zirisasula.

Ababaka bagambye nti ensonga y’okuva e Kigo erina okukolebwako mu bwangu oba si kyo abasibe babagabe mu makomera amalala.

Byabasaija yategeezezza nti e Kigo bakuumirayo basibe abazza emisango gya nnaggomola ng’amakomera amalala tegasobola kubatwala ate n’omujjuzo mungi naddala e Luzira.
 
Ettaka kwe bateesa okuzza ekkomera lino liweza yiika 425 nga liri Ssisa mu Ggombolola y’e Katabi mu Wakiso wabula beetaaga obuwumbi bubiri okuligula.

Ababaka baagambye nti ku ze baabadde bategeka okusasula Mmengo basooke baggyeko ezigula ettaka olwo amabanja bagasasule mpolampola.

‘Mulindeko okusasula Mmengo’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...