ENSIMBI zino ziriko okulya, fiizi, okusula n’emisoso emirala ate nga kino kisoboka singa aba asula kumpi ne yunivasite.
EMBEERA eriwo mu ggwanga ekaluubirizza nnyo abazadde era bangi tebakyasobola kuweerera baana , n’abo abatono abakikola bakikolera mu bugubi obutagambika.
KYOKKA abaana abasinga obungi ku abo abava ku yunivasite ng’oggyeeko ekyokugamba nti omulabirira okuva lw’atandika okusoma okutuusa lw’amala, bwe bafuluma era kibabeerera kizibu nnyo okufuna emirimu.
KINO nno kye kiseera eggwanga okutandika okulowooza ku nsoma ya tekiniko oba emisomo gy’emirimu egyobwongo.
MU ngeri eno tujja kusobola okusomesa omuyizi ku nsimbi ensaamusaamu, ate nga bw’afuluma kimwanguyira okufuna omulimu oba okugwetandikirawo.
EKYO ng’okitadde ku bbali omuyizi olumala omwaka ogusooka gwe omuzadde Katonda ne bw’aba akuggye mu nsi oba nga waliwo obuzibu obulala bwonna omwana asobola okutandika okukola ne yeeweerera oba oli awo n’aweerera ne banne abamuli wansi kubanga aba alina ky’ayize ekisobola okumuyimirizaawo.
EKYO bwe tunaakikola tujja kuba tusibiridde abaana baffe entanda entuufu, abo abanaaba baagadde okweyongerayo bafune diguli bajja kuba basobola bulungi okweweerera.
Abazadde tulowooze ku tekiniko