TOP

DP emezze NRM e Makindye

Added 13th July 2009

 Ssaalongo David Nsereko (NRM - Bukasa), abadde akulira akakiiko k’enguudo n’emirimu asuuliddwa ttale ne balonda Margaret Nakayima (DP - Luwafu/Salaama) eyamuwangulidde ku bululu 27 ku 14. Richard Kyeyune ow’omu Kamwanyi e Nsambya ye yalondeddwa okumumyuka.

 Nnaalongo Jane Frances N

 Ssaalongo David Nsereko (NRM - Bukasa), abadde akulira akakiiko k’enguudo n’emirimu asuuliddwa ttale ne balonda Margaret Nakayima (DP - Luwafu/Salaama) eyamuwangulidde ku bululu 27 ku 14. Richard Kyeyune ow’omu Kamwanyi e Nsambya ye yalondeddwa okumumyuka.

 Nnaalongo Jane Frances Ndagire (Kibuye II) teyavuga-nyiziddwa ku kakiiko k’ebyensimbi ate omumyuka we ye, Ismail Ssekitooleko bombi aba DP. Okulonda kuno okwakubiriziddwa sipiika Joe Nakibinge kwabadde mu lukiiko lwabwe olwafundikidde omwaka mu Calendar Prestige Hotel e Makindye.

  Fred Kavuma (DP - Kibuli) y’avunaanyizibwa ku by’obutale, emyalo n’emirimu emirala. Amyukibwa Rose Ssemuju (DP - Lukuli-Kkonge) ate Ssalongo Daniel Kamya  (DP - Nsambya Railways) wa kakiiko ka byanjigiriza nga yamezze Margaret Bonabaana owa NRM ku bululu 27 ku 13. Amyukibwa Sam Nadiope Gabula ow’e Kansanga.

  Dorothy Maala Ssekibaala owa DP teyavuganyiziddwa ku ky’abakyala.

  Oluvannyuma Town Clerk Daniel Mujjukizi yawadde buli kansala ettu omwabadde kkiro z’omuceere ttaano n’eza sukaali ssaako ebbaasa enzito.

DP emezze NRM e Makindye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...