TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ng’enda kugatta Mubajje ne Kayongo - Museveni

Ng’enda kugatta Mubajje ne Kayongo - Museveni

Added 7th July 2009

  Yagambye nti omu ku kaweefube gw’aliko kwe kutabaganya enjuyi z’Obusi-raamu ezitalima kambugu.

  Bino yabyogedde asisinkanye ekibinja ky’abakyala Abasiraamu 300 okuva e Masaka abaakulembeddwaamu Haji Bitamiisi Ddungu nga baawerekeddwaako ba Disitulikiti Kadhi okuva mu Uganda yonna

  Yagambye nti omu ku kaweefube gw’aliko kwe kutabaganya enjuyi z’Obusi-raamu ezitalima kambugu.

  Bino yabyogedde asisinkanye ekibinja ky’abakyala Abasiraamu 300 okuva e Masaka abaakulembeddwaamu Haji Bitamiisi Ddungu nga baawerekeddwaako ba Disitulikiti Kadhi okuva mu Uganda yonna abaamusis-inkanye mu maka g’Obwapulezidenti e Nakasero.
    Museveni yagambye nti ennyombo eziri mu Basiraamu zimubuza otulo n’agamba nti Gavumenti ya NRM yaakufuba okulaba ng’ebatuuza ku mmeeza emu batabagane,  kubanga abooluganda bita, biko-onagana tebyatika.

   Abakyala Abasiraamu be baasoose okumuloopera nti enjawukana eziri mu ddiini yaabwe zibakola bubi ne bamusaba abeeko eky’amangu ky’akolawo.

   Gye buvuddeko olukiiko lw’Obusiraamu e Masaka lwaggya obwesige mu Disitulikiti Kadhi, Sheikh Huzairu Kiruuta n’azzibwako poliisi ng’ekolera ku biragiro bya kkooti, era omusango gukyagenda mu maaso.

   Bamusiimye olw’ebirungi by’abakoledde naddala okukkiriza Yunivasite y’Obusiraamu e Mbale kati erina amatabi e Kibuli n’e Kabojja mu Kampala awamu ne mu Arua.     

   Gye buvuddeko ab’e Kibuli okulonda Mufuti owaabwe, Sheikh Zubairi Kayongo ne beekutula ku Mufuti w’e Kampalamukadde, Sheikh Shaban Mubajje gwe balumiriza okulya enguzi ekireeseewo akaleegabikya.

Ng’enda kugatta Mubajje ne Kayongo - Museveni

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...