TOP

Aloopye landiroodi okumukuba

Added 5th July 2009

OMUPANGISA aloopye landiroodi ku poliisi y’e Kanyanya omusango gw’okwekobaana n’abavubuka abalala ne bamukuba ne bamuwogola oluba ng’agamba nti takyasobola kugaaya kintu kyonna kati anywa bunywi.

  Kino kiddiridde abapoliisi okuva e Mpala okulagira ow’amawulire  obutakuba bifaananyi nga bali mu maka gano kubanga biyinza okubaleetera obuzibu.

  OC w’e Mpala, ASP. James Ochieng ng’ayambibwako munne eyategeerekeseeko erya Amaitumu baakutte omusasi ono ne bamukuba ne bamusikako kkamera era ne bamuyuliza n’essaati n’empale.

    Omulamuzi wa kkooti y’e Ntebe, Agnes Nkonge ye yalagidde famire ya Jeff Kamya Ssemakula edde mu maka gano.

   Kigambibwa nti Ssemakula yeewola obukadde 12 okuva ku muwozi wa ssente  mu kabuga k’oku Bayita Ababiri, John Tinka Rwakirega era ne bate-geeregana okusasula ssente ezo ng’ayongeddemu amagoba kyokka n’alemererwa ekyavaa-ko amaka gano okuboyebwa.

  Elizabeth Nabatanzi Lugudde, ssenga wa Ezra yagambye nti  amaka gano tegaali ga Kamya Ssemakula wabula yali agalabirira bulabirizi era tamanyi ngeri ki Rwakirega gye yajja okubagobamu ageddize.

  Omulamuzi Nkonge yalagidde abantu abaali bawabiddwa okwabadde Paul Bbira, Irene Nabuddo, Samuel Kawooya wamu ne Margaret Nakkazi okudda mu nju eno era Henry Musoke Nsubuga eyagigula ku Tinka agiveemu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...