TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannaddiini basabye baminisita abalyake balekulire

Bannaddiini basabye baminisita abalyake balekulire

Added 27th December 2011

BANNADDIINI basinzidde mu kusaba kwa Ssekukkulu ne basaba Bannayuganda okukomya obukumpanya ne basaba ne baminisita abasongeddwaamu ennwe z’obuli bw’enguzi okukkiriza okudda ebbali babuulirizibweko.

 

Bya Basasi Baffe

BANNADDIINI basinzidde mu kusaba kwa Ssekukkulu ne basaba Bannayuganda  okukomya obukumpanya ne basaba ne baminisita abasongeddwaamu ennwe z’obuli bw’enguzi okukkiriza okudda ebbali babuulirizibweko.

Mukomye obukumpanya ku mirimu - Bp. Luwalira 

E Namirembe, Omulabirizi Kityo  Luwalira yalabudde Bannayuganda   okukomya obukumpanya ku mirimu n’akubiriza abaawule, abaserikale, bannamateeka, baminisita n’ababaka ba palamenti bakole emirimu mu bwesimbu.

Polof. Bukenya acamudde ab'e  Lubaga

Lutikko y'e Lubaga yabuutikiddwa enduulu eyakulembedde mmisa, Bishop Christopher Kakooza bwe yalangiridde nti eyali omumyuka wa Pulezidenti Polof. Gilbert Bukenya okusaba yakubaddemu. Abantu baagumbye ku mulyango okumukulisa ekkomera era naye n’addamu nti, "Ennume ekula bigwo!" 

Okusaba kwetabiddwaamu eyamuddira mu bigere, Edward Ssekandi.


Bishop Luwalira ng'abuuza ku Polof. Nsibambi ne mukyala we e Namirembe. Ekif: Benjamin Ssebaggala

Omusumba Serwadda akolimidde abanabba ssente z'amafuta

Akulira amakanisa g’Abalokole mu ggwanga ageegattira mu kibiina Born Again Faith Federation, Omusumba Joseph Sserwadda ng’asinziira mu kusaba mu kkanisa ye eya Victory Church mu Ndeeba, yasabye abategeka okubba ensimbi ezigenda okuva mu mafuta ga Uganda, Katonda abakoleko. Yasabye Bannayuganda okwessaamu omutima ogukuuma ebyobugagga by’eggwanga n’asaba abakozesa okusasula obulungi abakozi.


Paasita Joseph Sserwadda ng'asabira abantu mu kkanisa ye mu Ndeeba ku Ssekukkulu. Ekif: Muwanga Kakooza

'Baminisita muswaleko'

Mu Basodokisi e Namungoona, Ssaabasumba Yona Lwanga yasabye baminisita abasongeddwamu ennwe z’obuli bw’enguzi bakkirize okudda ebbali babuulirizibweko.


Omusumba Yona Lwanga (wakati) n'abasumba abalala mu mmisa e Namungoona. Ekif: Eriya Luyimbazi

'Ekkanisa zissibwe mu bajeti y'eggwanga' 

Ate omusumba David Kiganda ow’ekkanisa ya Christianity Focus Centre mu Kisenyi yasabye Gavumenti esse ekkanisa mu mbalirira y’eggwanga kuba zikwata kisooka mu kulwanyisa obumenyi bw’amateeka. 


Pasita Kiganda ng'abuulira mu kkanisa ye mu Kisenyi ku Ssekukkulu. Ekif: Moses Lemisa

Yagambye nti omulimu ogulokolebwa ekkanisa z’abalokole ne poliisi tesobola kugukola. Yasabye poliisi ekwate bulungi omusango gwa Kato Kajubi ng’agamba nti bw’egukwata obubi, abantu bajja kutandika okutwalira amateeka mu ngalo.

Ate e Bulenga, Omusumba  w’abalokole ow’ekkanisa ya House Of Prayer, Joel Ssembayita yasabye abagagga okutoolanga ku bye balina bawenga ku batalina.


Bishop Ssebaggala ng'abuuza ku Bakulisitaayo e Mukono. Wakati ye Sekiboobo Alex Kigongo. Ekif: Henry Nsubuga

Ababbi muzze bye mwabba- Bishop Ssebaggala

Mu Lutikko e Mukono, omulabirizi James Williams Ssebaggala yasiimye ababaka olw’okukulembera olutalo lw’okulwanyisa enguzi n’asaba n’abakwatiddwa mu buli bw’enguzi okukomyawo bye babbye mu kifo ky’okwetonda.


Maama Fiina mu Klezia e Bulyanti. Yabawadde akakadde kamu. Ekif: Joseph Mutebi

Kalidinaali avumiridde abaserikale abakambwe

Kalidinaali Emmanuel Wamala ng’asinziira mu kusaba mu Klezia ya St. Peters e Nsambya, yavumiridde ebikolwa eby’obukambwe ebifung’amye mu ggwanga omuli abazadde okutulugunya ennyo abaana n’abaserikale b'ebitongole ebikuumaddembe okutulugunya Bannayuganda.

 Bishop Godfrey Makumbi owa West Buganda ng'asembeza mu lutikko e Kako. 

Besigye asabye wabeewo okusonyiwagana 

E Mbarara, Col. Kiiza Besigye yasabidde mu Klezia y’Abatukuvu Bonna ne mukazi we Winnie Byanyima ne mutabi waabwe Anselm  n’akubiriza abantu okusonyiwagana. 

Ye Dr. Sherodon Mwesigwa ow’Obulabirizi bwa Ankore yeekokkodde obuli bw’enguzi obukudde ejjembe mu ggwanga bwe yayogeddeko ng'obumusuza akukunadde.


Omusumba Mathias Ssekamanya ng'asembeza ab'e Lugazi. Ekif: Muwanga Kivumbi

'Abakyala muwulirenga abaami bammwe'

Mu ssaza lya Klezia e Lugazi, Omusumba Mathias Ssekamanya  yakubirizza abafumbo okukuuma eddembe mu maka. Yakubirizza naddala abakyala obuteewaggula ku babbaabwe, kuba omuze guno gwe gumu ku bivuddeko obutabanguko mu maka ensangi zino.


Kkwaaya ya  Klezia ya 'Christ The King' ng'eyimba ku Ssekukkulu. Ekif: Silvano Kibuuka

'Yezu atunaazaako ennaku y'omwaka'

Mu Christ The King mu Kampala, Msgr. Gerald Kalumba yasabye abantu okweyambisa amazaalibwa ga Yezu okwenaazaako amaziga g’omwaka okuli okunyigirizibwa kw’ebyenfuna n’ebirala ebibalese ng'omwaka bagwasimula bugolo. 

Ate ye Fr. John Bosco Ssebaggala n’anenya poliisi olw’okutulugunya Faaza Claudio Ssegonja ng’ateberezebwa okukola akabenje n’asaba poliisi enoonyereze n'obwegendereza ensonga ziggwe mu mazima n'obwenkanya. 

Bannaddiini basabye baminisita abalyake balekulire

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

DERRICK ORONE naye alaze by...

Yawangudde eky'omubaka wa Gogonyo mu disitulikiti y'e Pallisa. Aludde mu nsiike y'okuyimba era abaddeko maneja...

GEOFFREY LUTAAYA alaze byat...

GEOFFREY LUTAAYA Sisobola kuva mu kuyimba kuba kwe kunfudde Lutaaya ensi gw'emanyi naye olw'obuvunaanyizibwa kati...

Ebyakwasizza Dr Lulume mu k...

OMUBAKA wa Buikwe South eyaakalondebwa Dr. Lulume Bayiga n'abantu abalala mwenda baakwatiddwa poliisi y'e Nyenga...

'Siri mwangu buli ankubyeek...

EYAGAANYE okusasula ssente z'entambula bamutabukidde ne bamwambula ne bamutwala ku poliisi gye yeekoledde obusolo...

Ssaabasumba asabye Gavument...

SAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala Dr.Cyprian Kizito Lwanga awadde Pulezidenti Museveni amagezi okusoosowaza...