
Bya Josephat Sseguya
Endongo ya Silk Street Bash yajjuza abantu nga n’omuntu okufuluma obufulumi ebweru aba ng’ali ku kibonerezo. Endongo yatuuse okuggwa ku ssaawa 11:00 ez’oku makya ng’abacakaze bakyayingira.
Bakira abacakaze abava awalala wonna gye baasoose okucakalira ne bamalira mu ndongo eno. Abantu baatuuse okwekukuutirizaku okukkakkana nga balwanye olw’akavuyo.
Abayimbi omwabadde Ragga Dee, Aziz Azion, Leira n’abalala baacamudde abantu ate bannaabwe ebiriroliro bwe byakubiddwa ne baleekaana obutasalako. Wazzeewo empaka z’aba DJ wakati w’aba DJ ba Silk naddala DJ Ivan ne DJ Shiru wadde nga tebaayogedde yasinze naye nga buli DJ yalaze ky’alinawo.
Ekivvulu kyakomye ku ssaawa 8:00 ez’ekiro olwo endongo n’etandika okutuusa ssaawa 11:00 ez’oku makya.
Ebyana byawambye Silk nga biyingira omwaka