TOP

Basabidde eggwanga libeemu enkyukakyuka

Added 2nd January 2012

BANNADDIINI basinzidde mu kusaba kw’okuyingira omwaka omuggya ne basaba Bannayuganda baveeyo basabire eggwanga libeemu enkyukakyuka ez’omuggundu ezinaagoba bannabyabufuzi n’abakozi ba gavumenti abalya enguzi.

Bya Steven Musoke, Muwanga Kakooza, Henry Ssennyondo ne Henry Mutebi

BANNADDIINI basinzidde mu kusaba kw’okuyingira omwaka omuggya ne basaba Bannayuganda baveeyo basabire eggwanga libeemu enkyukakyuka ez’omuggundu ezinaagoba bannabyabufuzi n’abakozi ba gavumenti abalya enguzi.

Ng’asinziira mu kusaba kw’abalokole mu kisaawe e Namboole, akulira ekibiina ekigatta Ekkanisa z’Abalokole ekya ‘Born Again Faith Federation Omusumba Joseph Sserwadda yakunze bannaddiini bonna okuvaayo okusabira eggwanga lifune enkyukakyuka ez’omuggundu banabyabufuzi n’abakozi ba Gavumenti abalya enguzi bagobwe kuba bafiiriza abanaku. Olukung’aana luno lwawagiddwa kkampuni y’ebizigo eya Movit ne MTN. Aba Movit baagabidde abantu ebirabo okuli emmotoka eyawanguddwa omukyala Nambaziira Muyugwe,

Ate Omusumba, Jackson Ssenyonga owa ‘’Christian Life Church’ naye yasinzidde mu kusaba kw’Abalokole kwe yategese mu kisaawe e Kololo n’agamba nti obuli bw’enguzi bulemesezza obuyambi gavumenti bw’ewayo okutuuka ku muntu wa bulijjo olw’abanene abeekomya ssente n’asaba Abalokole basabire omuze guno gugobwe mu ggwanga.

Abalokole abakung’aanidde e Kololo baakubye ddansi ya Yesu n’okuzina amazina Amaganda nga beekulisa okumalako omwaka 2011 n’okuyingira 2012 nga bazinira ku mazina g’abayimbi nga Wilson Bugembe , Judith Babirye ne Betty Namaganda.

Ate mu kusaba okwabadde mu Lutikko e Namirembe okwakulembeddwa Ssabalabirizi Henry Luke Orombi ku lusooka omwaka, yawabudde nti bannabyabufuzi abeekalakaasa nga batambuza ebigere tebalina kye bajja kukyusa ku mbeera n’asaba ensonga zikwasibwe Yesu.

Yasabye Bannayuganda okulumirwa ensi yaabwe nga beewala okujamawaza ekibuga n’ebintu ebirala kuba tebalina walala wa kugenda. Yagambye nti obuli bw’enguzi obukudde ejjembe bwetaaga kuukwasa Yesu kuba tekyali muntu asobola kubulwanyisa. Ku ky’abatambuza ebigere nga beekalakaasa olw’embeera embi, Orombi yabuuzizza: ‘’Yasabye abatambuza ebigere bbo temuli bali ba nguzi ?’’. Yasabye Bannayuganda okujjumbira amasinzizo.

Mu klezia ya St. Agnes e Kibuye -Makindye: Bwanamukulu Fr. Joseph Lugobe alaze okunyolwa olw’eggwanga okuggwaamu ensonyi ekivuddeko obusiiwuufu bw’empisa n’abawala okwambala engoye ezibayisa obukunya, abalenzi okwambala empale eziraga amakugunyu, abakungu mu gavumenti obutakwatibwa nsonyi mu kubulankanya ssente z’omuwi w’omusolo.

Fr. Lugobe yagambye nti ennyambala y’abawala ennaku zino yeewuunyisa nga kati tokyawula bbulawuzi ku kiteeteeyi, obutambala ppeti n’abalenzi okusiba empale ‘bbalansi’ n’akunga Bannayuganda okuddamu ensonyi eggwanga litereere.

Ate mu Lutikko e Lubaga, omubaka wa Paapa wano, Ssaabasumba Paul Tschang In –Nameyeetisse obubaka bwa Paapa yasiimye Gavumenti okutandikawo enkola ya bonna basome eya pulayimale ne Siniya n’agamba nti kiraga nti erumirirwa bamusaayi muto be yagambye nti be baasinga obungi mu ggwanga.

 

Basabidde eggwanga libeemu enkyukakyuka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Innocent Ssewankambo, omuwagizi wa Vincent Kayanja (DP) ng’ali mu maziga olw’okulangirira omuntu babadde tebasuubira.

Ebyabadde mu kalulu k'obwam...

EBYAVUDDE mu kalulu ka bammeeya ba munisipaali n'aba Divizoni ez'omu City ez'enjawulo mu ggwanga byalangiriddwa...

Ebipiira ebyogerwako.

Basala bipiira ebigenda mu ...

WADDE bagamba nti "Awava munno tewadda munno" ebipiira ebikolebwa ku mmotoka zonna mu nkola ey'okuzitangira okukubagana,...

Katabaazi (awanise omukono) ne balooya be oluvannyuma lw'obuwanguzi.

Kkooti e Masaka eyimirizza ...

KKOOTI e Masaka yayimirizza okuddamu okubala obululu bwa Kalungu East lwa kusanga bbokisi nga mmenye. Omulamuzi...

Jack Wilshare

Wilshere eyali ssita wa Ars...

Essuubi ly’okusigala ku butendesi bwa Newcastle lyeyongedde okuggwa mu Steve Bruce, ttiimu eno bwe yakubiddwa Leeds...

Bobi ng’ali ne mukyala we, Barbie Itungo eggulo.

Akafubo ka Kyagulanyi n'aba...

AKAFUBO ka Kyagulanyi n'ababaka ba NUP kaasinze kutambulira ku kiki kye bazzaako oluvannyuma lw'akalulu okuggwa....