
Bya Deborah Nanfuka ne Shamim Nabunya
OMUSERIKALE wa poliisi ababbi bamusanze yeebase ng’akuuma ne bamukuba akatayimbwa ku mutwe n’okumufumita ebiso ne bamunyagako emmundu.
Isaac Oboth 25, akolera ku poliisi y’e Ngobe e Bunamwaya era yaweereddwa ekitanda mu ddwaaliro e Mulago n’ebisago ku mutwe.
Oboth baserikale banne baamuleseewo ne bagenda okulawuna ekitundu ye n’asigala mu kayumba ka poliisi era wano abazigu we baamusooberedde ng’asumagidde mu katebe ne basooka ne bamukuba akatayimbwa ku mutwe oluvannyuma ne bamubbako emmundu..
Oboth yabiddwako emmundu ekika kya AK47 wabula muliraanwa we Patrick Tazenya amujjanjaba e Mulago yategeezezza nti yaddukiridde kyokka ng’emmundu bamaze okugimunyagako ne bamutemaatema.
Omukwanaganya wa poliisi n’abantu baabulijjo, Stephen Mukombe yategeezezza nti ettemu lisusse mu Ngobe ate ng’ababbi baana baakukyalo era abantu babamanyi naye batya okutegeeza poliisi.
Yategeezezza nti gye buvuddeko ababbi ab’emmundu bateeze Emmanuel Bwanika ne bamunyagako emmotoka kyokka bwe yabeegayirira bamulekere obulamu kwe kunyaga emmotoka eyabalemeredde ne bagisuula.
Ate abantu bana abazigu babatemyetemye mu kiro Ky’Ousooka Omwaka era bapooceza mu ddwaaliro e Mulago.
Abubakar Wamala omutuuze w’e Kawempe mu Katooke Zooni era omukozi mu kkampuni ya Roko yabadde addayo eka ng’ava okujaguza okumalako omwaka ne bamutemaatema n’okumukuba emiggo nga kati apooca e Mulago.
Mohamed Watorya omutuuze w’e Namuwongo omukuumi mu bbaala ya Umoja yamufumise ebiso n’amukuba ne batooni nga bazannya puulu mu kiro ky’Olusooka Omwaka.
Martin Nsereti 35, omutuuze we Pallisa yabadde anaatera okutuuka mu makaage ng’atambulira ku pikipiki abasajja abataategeerekese ne bamutema ejjambiya mu ffeesi n’omukono nga kiteeberezebwa okuba nti kyavudde ku mpalana za ttaka.
Ate Ababbi bapangisizza owa bodaboda Jackson Tumwesigye omutuuze w’e Mukono okubatwala e Kisaasi bwe batuuse mu kkubo ne bamukuba ennyondo ne bamunyagako piki-piki.
Tumwesigye annyonnyola nti abadde akolera ku Bishop Stage e Mukono. Poliisi yamulonze Kisaasi ku nkingizi za Kampala n’emutwala mu ddwaaliro e Mulago. Agamba nti yabbiddwako pikipiki UDI205R Bajaj Boxer gy’abadde yakagula.
Owapoliisi bamukubye ne bamuggyako emmundu