TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuliro gusaanyizzaawo emmaali y''abasuubuzi e Bwaise

Omuliro gusaanyizzaawo emmaali y''abasuubuzi e Bwaise

Added 5th January 2012

ABASUUBUZI n’ababazzi e Bwaise basigadde mu biwoobe oluvannyuma lwa nnabbambula w''omuliro okuddamu okukwata ekifo webakolera ne gusaanyaawo mmotoka n’ebintu ebirala ebibalirirwa mu bukadde bwa ssente.

Bya Sarah Zawedde

ABASUUBUZI n’ababazzi e Bwaise basigadde mu biwoobe oluvannyuma lwa nnabbambula w'omuliro okuddamu okukwata ekifo webakolera ne gusaanyaawo mmotoka n’ebintu ebirala ebibalirirwa mu bukadde bwa ssente.

Bino byabaddewo ku Lwokuna ku ssaawa 7.00 ez’emisana omuliro bwegwasaanyizzaawo ebintu by’abasuubuzi mu Industrial Area zooni e Bwaise.

Abajaasi , poliisi ezikiza omuliro n’abantu baabulijjo bonna beenyigidde mu kuzikiza omuliro guno ogwamaze essaawa 2 nga gukyayaka.

Mu bintu ebyayidde mulimu emmotoka nnamba UAH 603B eya Twaha Sonko abadde gye yabadde amaze okutikkako empumbu. Ebirala ebyayidde mwabaddemu ebyuma bye bakozesa mu kubajja n’okuwunda ebibajje, embaawo ezibalirirwa mu bukadde bwa ssente ,emifaliso n'ebibajje bya bakasitoma bye baababdde bamalirizza byonna ebyasirikidde mu muliro.

Omu ku basuubuzi Twaha Sserwadda yagambye nti kiteeberezebwa nti omuliro gwavudde mu kayumba ka munnaabwe Muhamad Abbas  eyabadde agenze okusaala ku muzigiti gwa Biral e Bwaise okumpi ne webakoleera “Nalabye omusajja eyafubuttuse mu kayumba ka Abbas  n’akasuka akafaliso akaabaddeko omuliro ebweru mu luguudo  kyokka ssaamutaddeko nnyo birowoozo. Oluvannyuma nagenze okulaba  nga gy'akasuse akafaliso wakutte omuliro ogwalanze ne gukwatiramu n'emifaliso emirala egyabadde okumpi ne gulanda.” Serwadda bweyagambye.

Yagambye nti baagezezzaako okuzikiriza omuliro ne gubalemerera mmotoka ya Poliisi we yatuukidde ng’ebyamaguzi by'abasuubuzi bingi bimaze okusaanawo.

Abasuubuzi n'abatuuze baanenyezza Poliisi ezikiza omuliro olw'okulwawo okutuuka mu kifo ekyavuddeko omuliro okusaasaanira mu bifo ebiwera ne gusanyaawo emmali y'abasuubuzi.

Guno mulundi gwa 12 ng'akatale k'e Bwaise kakwata omuliro.

Poliisi ezikiza omuliro ng'eyambibwako abatuuze okuzikiza omuliro ogwasaanyizzaawo emmaali y'abasuubuze mu katale e Bwaise. Ekif: Sarah Zwedde

Poliisi ezikiza omuliro ng'eyambibwako abatuuze okuzikiza omuliro ogwasaanyizzaawo emmaali y'abasuubuze mu katale e Bwaise. Ekif: Sarah Zwedde

Abasuubuzi nga bali ne poliisi ezikiza omuliro ku kibanda ky'embaawo omuliro wegwatandikidde gumale gubune akatale konna. Ekif: Sarah Zawedde

Abamu kubadduukirize nga badduka amazzi poliisi ge yabadde ekozesa okuzikiza omuliro. Ekif: Sarah Zawedde

Emmotoka eyabadde ettisse empumbu y'embaawo ku kibanda omuliro wegwatandikidde nayo omuliro gwagizingiddemu n'ebengeya. Ekif: Sarah Zawedde

Omu ku badduukirize ng'alaga eggaali maanyigakifuba eyakutte omuliro. Ekif: Sarah Zawedde

Abatuuze nga batunuulira poliisi ezikiza omuliro. Ekif: Sarah Zawedde

s

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....