TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'e Bwaise banoonyereza ku bookya ebibanda byabwe

Ab'e Bwaise banoonyereza ku bookya ebibanda byabwe

Added 6th January 2012

ABASUUBUZI n’ababazzi e Bwaise basigadde mu biwoobe oluvannyuma lw’omuliro okuddamu okwokya ekifo kyabwe emisana ttuku ne gusaanyawo mmotoka n’ ebintu ebirala ebibalirirwa mu bukadde.

Bya Sarah Zawedde    

ABASUUBUZI n’ababazzi e Bwaise basigadde mu biwoobe oluvannyuma lw’omuliro okuddamu okwokya ekifo kyabwe emisana ttuku ne gusaanyawo mmotoka n’ ebintu  ebirala  ebibalirirwa mu bukadde .

Bino byabaddewo ku ssaawa nga 7.00 ez’emisana  ku Lwokuna  omuliro bwe gwasaanyizzaawo ebintu by’abasuubuzi mu Industrial Area e Bwaise . Amyuka ssentebe Diriisa Sebyala yategeezezza nti guno omulundi gwa 12  ng’ebibanda bikwata omuliro ebintu ne bisaanawo . Abajaasi , poliisi n’abantu baabulijjo bonna beenyigiddemu mu kuzikiza omuliro guno ogwamaze essaawa bbiri  nga gukyayaka .

Mu bintu ebyayidde mulimu emmotoka nnamba UAH 603B nga nnannyiniyo Twaha Sonko  abadde amaze okugitikkako empumbu gy’abadde  atwala mu Industrial Area ku luguudo lwa Jinja Road. Ebirala ebyayidde bye byuma bye bakozesa mu kubajja , okusala n’okuwunda ebibajje. Embaawo, emifaliso n’ebibajje bya bakasitoma baabwe bye baabadde bamalirizza , firiigi n’ebirala.

Omu ku basuubuzi  Twaha Serwadda  agamba nti kiteeberezebwa nti omuliro gwavudde mu kayumba ka munnaabwe Muhamad Abas  eyabadde agenze okusaala ku muzigiti gwa Biral  e Bwaise okumpi ne we bakolera.  “Nnalabye omusajja eyafubutuse mu kayumba   n’akasuka akafaliso akaabaddeko omuliro ebweru mu luguudo  kyokka samutaddeko birowoozo . Oluvannyuma nagenze okulaba  ng’omuliro  gwaka.” Serwadda bwe yagambye.

 Wabula beemulugunyirizza poliisi obutayanguwako kuzikiza muliro guno.

Abasuubuzi  bakaaba

Twaha Sonko nnannyini mmotoka eyayidde  : Nsigadde nga bwendi era sirina we ntandikira kubanga emmotoka ebadde ekola ssente eweddewo naye tusaba buyambi mu gavumenti naffe etuddukirire tufune entandikwa kuba ebiseera bye tulimu bizibu ddala

Rashidah Nakaasi : Ndabye sikyalina kyakukola kubanga  mbadde nnaakewoola 800,000/-okuva mu Pride Micro Finance okuzzaawo bizinensi yange eyaggwawo era nga nakatandika okuzizzaayo kyokka kinkubye enkucwe ate ebintu byonna bwe bisanyiziddwaawo mu muliro obuto. Tusaana kuyambibwa.

Daudi Mutekanga :Ebyuma , embaawo n’ebintu byange ebirala  ebibalirirwamu obukadde 600 byayidde. Tusaba Museveni  aveeyo  ku luno naffe atudduukirire kubanga embeera mbi. Wabula bwe wabaawo abayokya ebintu byaffe mu bugenderevu basaana bazuulibwe era amateeka gabakangavvule.

Khalid Serwadda :Bulijjo omuliro gwokya ebintu byaffe  ekiro nga twewuunya engeri gye gutwokyamu . Naye nneewunyizza okulaba nga gutwokeza obudde emisana . Era omusajja eyafubutuse omwavudde omuliro nnamulabye naye saamutaddeko biroowozo. Ebikolwa bino bifiiriza.

 

 

Ab’e Bwaise banoonyereza ku bookya ebibanda byabwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bugembe ng'abuulira enjiri mu kusabira omugenzi Yiga.

Jjengo tolwana ntalo za kit...

Omusumba w'Ekkanisa ya Worship House e Nansana akubirizza Omusumba w’Ekkanisa ya Revival Christian Church Kawaala,...

Abakuumaddembe nga bakunguzza omuvubuka.

Abaabadde bakola effujjo mu...

Abavubuka abaagenze mu kuziika omugenzi Pasita Yiga Abizzaayo e Kawaala ku Lwomukaaga kyokka ne badda okunoonyeza...

Abatuuze nga basobeddwa mu lusuku lwa munnaabwe olwasaayiddwa.

Abantu ab'ettima basaayidde...

ABANTU ab'ettima abatannaba kutegeerekeka bakakkanye ku lusuku lw'omutuuze Jane Namakula 45, ow'e Kyassenya oluwezaako...

Katikkiro Mayiga awabudde a...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Omuntu anaakulaakulana alin...

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya...