TOP

Omu attiddwa mu kulwanira ettaka e Namungoona

Added 13th January 2012

OMUNTU omu attiddwa ate omulala n’akubwa essasi erimutuusizzaako ebisago abatuuze bwe babadde balwanagana n’ab’ekitongole ky’amayumba ekya “National Housing & Construction Co. e Namungoona.

Bya Robert Mutebi

OMUNTU omu attiddwa ate omulala n’akubwa essasi erimutuusizzaako ebisago abatuuze bwe babadde balwanagana n’ab’ekitongole ky’amayumba ekya “National Housing & Construction Co. e Namungoona.

Alex Lubega 20, yafiiridde mu ddwaaliro e Mulago poliisi gye yamuddusizza oluvannyuma lw’okuwambibwa abaserikale b’ekitongole ekikuumi ekya Saracen ne bamutulugunyiza mu ofiisi z’ekitongole ky’amayumba kye bakuuma n’oluvannyuma ne bamuleka ng’ataawa.

Poliisi ng’eduumirwa atwala poliisi ya Kampalamukadde, Siraje Bakaleke be baanunudde Lubega eyabadde aggaliddwa mw’ emu ku ofiisi kyokka we baamusangidde ng’asuuliddwa wansi ku seminti nga takyategeera ne bamuddusa e Mulago gye yafiiridde.

Ye omutuuze omulala Isaac Nsubuga, omukuumi mu kitongole kino yamukubye essasi ku ttama n’alumizibwa.

Entandikwa y’obutakkaanya:

Obutakkaanya wakati w’ekitongole ky’amayumba n’abatuuze ku byalo 8 mu muluka gw’e Lubya waatandika  oluvannyuma lw’ekitongole kino okubagoba ku ttaka lino omwaka oguwedde.

Ensonga zaatwalibwa mu Kkooti Enkulu eyalagira ab’ekitongole kino okugira nga balese abatuuze kyokka ne baziimuula kkooti. Abantu abasoba mu 1,000 be bali ku ttaka lino eriri mu Namungoona, Lugala, Lubya, Masanafu, Kigoonya, Bukuluuju n’ewalala.


Okulwanagana:

Eggulo abatuuze abali ku ttaka lino baafunye ebbaluwa okuva ewa Minisita wa Kampala, Muruli Mukasa ng’ebalagira okuva ku ttaka lino baleke ab’ekitongole ky’amayumba basibe ettaka lyonna kwe bazimba. Ebbaluwa eno yatabudde abatuuze ne beekunga nga bakulemberwa bassentebe baabwe oluvannyuma abaatandise okulwanagana n’abakuumi ba kkampuni eno aba Saracen Guards.

Abatuuze bakira bayolekeza abakuumi amayinja ng’abakuumi babaanukuza masasi  n’okubakuba kibooko. Abatuuze baakumye omuliro ku bimu ku bintu bya kkampuni eno ne biteta.

Bakaleke, RDC wa Lubaga Zaina Muwonge ne RCC wa Kampala, Alice Muwanguzi baatuuse ne bakkakkanya abatuuze be baagumizza ng’ensonga zaabwe bwe zigenda okukolwako. Baalagidde poliisi y’eba ekuuma ekitundu ky’ettaka okutuusa ng’ensonga egonjoddwa.

Omu attiddwa mu kulwanira ettaka e Namungoona

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...