TOP

Abadde asobya ku musaabaze mukwate

Added 14th January 2012

Poliisi ekutte omusajja omukuumi Tonny Obello ng’emuvunaana okugezaako okusobya ku mukazi era kati akuumirwa ku poliisi ya Jinja Road.

Bya Margaret Ziribaggwa

Poliisi ekutte omusajja omukuumi Tonny Obello ng’emuvunaana okugezaako okusobya ku mukazi era kati   akuumirwa ku poliisi ya Jinja Road.

Omuwala (amannya gakisiddwa) omukuumi ono gw’avunaanibwa okugezaako okusobyako agamba nti:

“Navudde ku mulimu mu wooteeri gye nkolera  e Kamwokya ku ssaawa nga 6.00 ez’ekiro kwe kulinnya bodaboda entwale e Ntinda.

Twabadde tunaateera okuyingira  mu kabuga k’e Ntinda omusajja eyabadde anvuga n’asiba omulundi gumu era bwe namubuuziza ogubadde kwe kuntegeeza  nga bwe yeekanze emmotoka ya mukamaawe. Kwe kumubuuza oba mupoliisi n’akkiriza.

Yakyusizza ekkubo n’akwata oluguudo olwa Semawata nga bw’akkaatiriza nti adduka bakama be. Yavuze naayambuka  ng’adda e Ntinda.

Yawalabudde bodaboda nga nakaze kumubuuza gy’antwala nga tanyega  okutuusa bwe yayimiridde.

Yansindise n’angwira, n’atandika okusika sikaati yange, nalwanye nga bwe ndekaana okutuusa  bwe yalengedde amataala g’emmotoka olwo n’anvaako.

Nadduse okutuuka bwe nasanze abasirikale ne mbannyonnyola. Nagenze ku poliisi  ne nkitegeera nti eyabadde agezaako okunkwata  mukama waabwe. Ensonga zange ziri  ku poliisi ya Jinja Road ng’omusango guli ku fayiro nnamba  61/03/1/12”, bw’agamba.

 

 

Abadde asobya ku musaabaze mukwate

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...