
Bya Donald Kiirya
POLIISI e Jinja ekutte omukazi n’emuggalira ng’emuvunaana okweyita ky’atali n’afera abantu mu Jinja.
Kigambibwa nti Eunice Kainembabazi abadde yeeyita omujaasi ali ku ddaala lya Captain oluusi Major ng’aggya ssente ku bantu ng’abasuubiza okubafunira ebintu nga seminti mu magye ku ssente entono.
Omwogezi wa Poliisi mu Busoga, Samson Lubega yategeezezza bannamawulire nti Kainembabazi abadde afera abantu ng’abalimba nti abeera mu nkambi ya Gaddafi e Jinja.
Yagambye nti waliwo omusajja David Isabirye gwe yafeze nti ajja kumuguza ku seminti okuva mu dduuka ly’amagye mu nkambi ya Gaddafi ku bbeeyi entono n’amuggyako obukadde bubiri.
Lubega yategeezezza nti Kainembabazi okukwatibwa Isabirye yasoose kujja ku Poliisi n’agitegeezaako ne balondoola Kainembabazi.
Kainembabazi, omutuuze ow’oku kyalo Wanyama mu kabuga k’e Bugembe baamukwatidde mu nkambi ya Gaddafi.
Poliisi yazudde nti Kainembabazi takolangako na mu kantiini y’amagye mu nkambi ya Gaddafi.
Lubega yayongeddeko nti babadde bafunanga okwemulugunya okuva eri abantu ku nsonga ya Kainembabazi okubafera nga yaferako ne David Opio.
Agambibwa okufera ab’e Jinja mukwate