TOP

Ebigezo bya PLE bifulumye

Added 19th January 2012

EBYAVA mu bigezo bya PLE bifulumye ng’abayizi 49,245 baayitidde waggulu mu guleedi esooka ate bannaabwe 7,000 be baagudde.

Bya Ahmed Mukiibi ne Angel Lubowa

EBYAVA mu bigezo bya PLE  bifulumye ng’abayizi 49,245  baayitidde waggulu mu  guleedi esooka ate bannaabwe 7,000 be baagudde.

Abayizi  535,933 be baatuula ebigezo bya PLE mu November 2011 nga batuulira mu masomero 11,139 okwetoolola Uganda yonna. Kuliko abayizi 446,928 ab’amasomero ga UPE ate abasigadde 86,005 ba masomero ag’obwannannyini

Minisita w’Ebyenjigiriza  Jesca Alupo Epel yafulumizza ebyava mu bigezo ku mukolo ogwabadde ku kitebe kya Minisitule mu Kampala nga gwetabiddwako baminisita Kamanda Bataringaya ow’amasomero ga Pulayimale ne Dr. JC Muyingo ow’amatendekero agaawaggulu.

Omuwandiisi wa UNEB , Mw. Matthew Bukenya bwe yabadde ayanjulira Minista Alupo ebyava mu bigezo yategeezezza nti ku luno abayizi ba P.7 abaayitidde mu guleedi esooka baabadde bangi okusinga emyaka egiyise.

Wabula yategeezezza nti okutwaliza awamu, ku luno abayizi abaatudde mu PLE tebaakoze bulungi kwenkana abatuula PLE mu 2010.

Bukenya yagambye nti abayizi 444,815 be baayise ebigezo bino, bw’ogeraageranya n’abayizi 431,706 abaayita mu 2010 n’abayizi 418,479 abaayita mu 2009.

Yagasseeko nti ku bayizi  444,815  abaayise  ebigezo by’omulundi guno, abayizi 49,245 baayitidde mu guleedi esooka,  216,652 baayitidde mu guleedi eyokubiri, 265,897 baayitidde mu guleedi eyokusatu ate 74,988 baayitidde mu guleedi eyookuna.

Wadde abayizi 444,815 batwalibwa okuba  nga baayise PLE, Bukenya yakisimbyeko amannyo nti abayizi 363,427 bokka be balina omukisa okulondebwamu gavumenti benaaweerera ku bwereere mu Siniya esooka mu nkola ya USE ne mu matendekero ag’ebyemikono mu nkola ya UPPT kubanga baafunye obubonero obutasukka 28  gavumenti bw’esalirako. 

 Bukenya yategeezezza nti ku luno abayizi baasinze kukola bulungi mu ssomo lya Ssayansi ne baddako olungereza, okubala  ate SST n’abayisaamu bubi kyokka n’annyonnyola nti abagolozi b’ebigezo baakoze lipoota nga balaga nti abayizi beeyongedde okutegeera ebintu okusinga bannaabwe ab’emyaka egyayita.

Wabula yagambye nti abayizi ab’omu masomero ag’omu bibuga bakyakubya kaga bannaabwe ab’omu byalo nga kino kyeyolekera ku guleedi mwe baayitidde.

Waliwo obuzibu, Bukenya bwe yaloopedde Minisita Alupo nti bwetaaga okunogera eddagala nga buno bw’abayizi abeewandiisa okutuula ebigezo kyokka ne batalabikako nga bitandise ate abamu ne bakolako empapula ezimu.

Bukenya yagambye nti ku luno abayizi 535,933 be baawandiisa  kyokka  abayizi 515,916 bokka be baatudde, ekitegeeza nti abayizi  19,917 tebalabiseeko.

Yasiimye gavumenti n’ebitongole ebikuuma ddembe olw’okusobozesa UNEB okutegeka ebigezo ne bitabbibwa n’asiima abakulira abasomera, abasomesa, ba mbega n’abagolozi b’ebigezo.

Bukenya yalagidde abakulira ebyenjigiriza ku buli disitulikiti okunoonya ebyava mu bigezo ku kitebe kya UNEB e Ntinda  okuva n’olwaleero ku ssaawa ssatu ez’enkya.

Ebigezo bya PLE bifulumye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...